Baganda Radio
YouCMSAndBlog Module Generator Wizard Plugin
Welcome, Guest
Username Password: Remember me

ABAGANDA BE BASOOKA OKUFUGA MISIRI
(1 viewing) (1) Guest
  • Page:
  • 1
  • 2

TOPIC: ABAGANDA BE BASOOKA OKUFUGA MISIRI

ABAGANDA BE BASOOKA OKUFUGA MISIRI 5 years, 11 months ago #1115

  • Kigongo
  • OFFLINE
  • Administrator
  • Posts: 373
  • Karma: 6
Abaganda be basooka okufuga Misiri

Kino ekitabo kyaawandiikibwa Omugenzi Fr. Elias Mukiibi Buzinde (PHD Theology DR Phylosophy) Wano tujja kubaleeterako obutundu bubiri era nga bwe bujja okuwanikibwa ne mu Kinanyi/Magazine yaffe mu Luganda nemu Lungereza. Nga kino kye kisooka ku bitabo byetujja okubaleetera nga Abaganda bewandiikira ebyafaayo byaabwe, nga bwekiteekwa okukolebwa buli muntu omulamu.

Ekitundu Ekisooka
Ekitabo kya Sir Apolo kaggwa ekiyitibwa Ba Ssekabaka be Buganda kiraga nti Ssekaba Kintu ye yali Kabaka wa Buganda eyasooka
Kyokka waliwo ebintu bibiri ebilaga nti ekyo sikituufu,era nge dda waliwo ba Kabaka abasooka, Kintu okufuga Obuganda.
Ebintu ebyo byebino:

1. Abaganda Nnakabala Kabaka bamuyita' Beene' era ne mukyaala we nga yitibwa Bandi. Amannyaago gombi tegavangawo nokutuusa kati.
Mu lulimi Oluganda bwe bakugaamba nti tokwaata ku kintu ekyo kubanga kya Beene oba kya Bandi, kiba kitegeeza nti ekintu kyoyagala
okukwatako kya nnyinimu oba kya mukyalawe.
Beene yali Kabka wa Buganda era yeyasooka okufuga Obuganda.Ekizibu ekiriwo kiri nti tetumanyi myaaka we yafugira kubanga tetulina
biwandiiko bimukwatako.Bwekityo twasigaza njogere yokka nti Kababaka ayibwa Beene n'olwensonga eyo Kintu ssi ye Kabaka wa
Buganda eyasooka .

2.Sir Apolo Kaggwa atugamba mu kitabo kyekimu nti (a) Waliwo olufumo olugamba nti Ssekabaka Kintu ne mukazi we Nambi Nantuttululu
baava mu Ggulu . (b) Ssekaba Kintu yava mu Ethiopia najja mu Buganda era nti yajja ne Bika amakumi asatu 30, naye nga e Ssese gye yasinziira
yasangayo ebika mukaaga binansangwaawo.
Olufumo ( myth) olugamba nti Kintu yava mu Ggulu ssi lwenjagala okwogerako.Kyenjagala okusimbako amannyo kye Kya Kintu okuva
mu Ethiopia okujja mu Buganda.Waliwo ebibuuzo byetulina okwebuuza era bye bino:

( i) Kintu yali wa gwanga ki yali mu Ethiopia oba yali Muganda?

( ii)Bwetugamba nti Kintu yali munnansi we Ethiopia kiki ekyamuleeta mu Buganda ,mu nsi gye yali tamanyi,Abaganda nebamukkiririzaamu

nebatuuka nokumuwangammya mu ggwanga ku Namulondo ya Buganda ekintu ekitabangawo mu byafaayo bya Buganda?
Oba nga Kintu ya mu Ethiopia lwaaki elinnya lye ne lya mukazi we galabika galabika nga mannya ga Baganda?
Kwekugamba ne mu Ethiopia nayo baalina amannya agfanana n'ago Abaganda ge baatuumanga mu Buganda?.Nantiki erinnya Kintu ne Nambi
gaagandawazibwa luvannyuma lwakutuuka kwa Kintu ne mukazi we mu Buganda?

( iv) Kintu wamu n'abantubantu be yatuuka nabo e Ssesse baali bogera lulimi ki era bategerangana batya naabo e be sanga ku lukalu
lwa Buganda?
(v) Lwaaki abantu abajja ne Kintu okuva e Ethiopia Sir Apolo Kaggwa abayita Ebika amakumi asatu (30).Ekigambo bika kyalina makulu ki?
(a)eri Kintu (b) eri Sir Apolo Kaggwanga yogera ku bantu ba Kintu ?Lwaaki abantu abo bayitibwanga erinnya Ebika

(vi)Lwaki Kintu na bantubeyajjanabo okuva mu Ethiopia basalawo okujja mu Buganda, mukifo kyokusenga mu nsi endala yonna eyali
eriraanye Ethiopia. Ebibuuzo ebyo nga sinaba kubiddamu kubyanukula kyetagisas okwebuzaayo ebirala nga biva ku kirowoozo nti kyandiba nga
Kintu ne Nambi n'abantu be bajja nabo nga bonna baali baali Baganda .Bwekiba ekituufu nti baali Baganda .

(i) Batuuka batya mu Ethiopia? (ii) Kiki ekya bawaliriza okuva mu Ethiopia okukomawo mu Buganda (iii) Lwaaki Kintu yajjira mu kaseera
akakazigizigi nga Kabaka Bemba abntu bamaze okumukyaawa era nga bamupatiise n'erinnya lya Musotaolw'engeri gye y'abattangamu.
Ebibuuzo mukaaga ebisoose nabino ebisatu, ebisembeeyo njagala mbyanukule no bujulizibubuno
Last Edit: 5 years, 11 months ago by Kigongo.

Re:ABAGANDA BE BASOOKA OKUFUGA MISIRI 5 years, 11 months ago #1116

  • Kigongo
  • OFFLINE
  • Administrator
  • Posts: 373
  • Karma: 6
Ekitundu Ekyokubiri


EBYAFAAYO BYA MISIRI N'BAGANDA

1.Bulge wallis , E.A .Yawandiika ekitabo kye yatuuma" Gods of the Egyptians" Vol 1 NewYork 1969). Bwosoma Prefance XIV agamba nti
abantu basooka okusenga mu Misiri abasooka baava mu buvanjuba bwa' Africa.
2.Prutarcos oba (Plutarchus)O muyonaani eyaliwo ku ntandikwa ye kyaasa kya Yesu Kristo yawandika ekitabo kye yatuuma Isis and Osiris
ku mutwe gwa 382 agamba bwaati: "Abantu abaali ku nsibuko yo mugga Kiyira bakitwaala nti buli kitundu kyonna Omugga mweguyita okutukira ddala
gye kukoma yali nsi yaabwe."

3.Ebyaafafyo bya Misiri biraga nti wakati we myaaka 3000bc ne 2500bc Misiri yali efugibwa Kabaka eyali ayitibwa Osiris era nga nemukaziwe
yali ayitibwa Isisi.Kabaka oyo ne mu kyalawe be bareeta obugunjufu mu Misiri n'ebweeru waayo.
Bwosoma ekitabo ekya Budge ekirala kye yatuuma The book of the Dead( Arkana edition 1985) ku lupapula 34-35okizuula nga kiraga nti aba Misiri
baali bakikkiriza nti Namulondo ya Osiris ne Isis yali teri mu Misiri ,wazira yali eri mu nnyanja Omusibuka omugga Kiyira era nga munyanja eno
ne ba Lubaale (God) mwebanywanga amazzi .

4.Ebyafayo biraga nti tewa amanyi linnya lya nsi eyo ttuffu..Abayonaani bagituuma Aegyptos, Abayudaaya baagiyita Mazor, oba Mizriam
ate bo abawalabu nebagiyita Misr mu lulimi oluswayiri (Swahiri ) eyitibwa Misir naye Abaganda nebagikazaako lya Misiri.

5. Frazer James naye yawandiika ekitabo ekikye kyeyatuuma Adonis Attis , Osiris ( third edition New York 1961)
Okuva okuva ku lupapula 167okutuusa ku 200 agamba bwaati ebyaafaayo bya Osiris ne Isis, empiisa n'obulombolombo ebyaali mu Misiri biraga
nti abantu abo bombi basibuka mu Buganda .Era ebibakwatako byebimu ddala nbya Mukasa naddala mu kusinza n'okukuza Enjoleza ba Kabaka .
Kati kantuuuke ku nsonga mu bufunze .

(1) Abawandiisi abataano bendaze waggulu bakiraga bulungi nti wakati we myaaka 4000 ne 2500BCwaliwo Abaganda abava mu bizinga bye
Ssese nebagenda nga bagoba omugga Kiyira gye guyiwa.Kyebaali bagenderera kwe kulaba nti ebitundu byonna omugga mweguyita bya Buganda.

( 2) Abantu bano bwe batuuka mu Kyererezi nebasimba emisiri gye mmer emiyitirivu obungi.Olwokubeera nti ensi empya yali ya Kyererezi (ntereevu)
Kirabika omuntu yasobolanga okutunulira emisiri gye' mmere amaaso ge negakoma.Nekyaava mweekyo ekitundu oba ensi ensi eyo empya
Abaganda gyebaali befunidde kwekugituuma elinnya eryo nga Abagandabwebaali balyatula, bwekityo bo ne balyatula Misiri.

(3) Osiris ne Isisi si mannya ga bantu abaali bayitibwa bannansi bannaabwe bwe batyo,wazira abayonaani be baali bagezaako okuwuliririrza
enjantula y'erinnya lya Kabaka oyo . Basalawo enjatula nti yali eyitibwa Osiris nga ne mukazi we Isis.
Kyooka bwosoma ekitabo kya Budge ekya (The book of the dead) ne kya Mead Thrice Greatest Herman ojja kukizuula nti Osiris ne Isis gava mu
linnya erya sangibwaawo nerisigala nga liyitibwa Asa oba Asar oba Asta.

.Kirabika nti Asa yava mu linnya lya Mukasa era ekitabo kya Budge The book of The Dead olupapula 154 waliwo ebigambo ebisoma
bwebiti: o Re-lukasa , O god , Prince of the gods of the Eastern part of Heaven........Kirabika nti abantu abatali Bagandaabaali mu Musiri tebasobola
kwatula bulungi linnya lya Mukasa era kyebaava balisalako.

Bwekityo ebitabo ebyogera ku Osiris ne Isisi biba byogera ku mpisa na bulombolombo obulaga nti abafuzi ba Misiri absooka baali Baganda
era baava mu lulyo lwa Mukasa eyali Kabaka w' ennyanja Nalubaale n'olukalu olwaalli lugiriraanye wamu ne bizinga by'e Ssesse byonna.
(4)Namulondo ya Osiris ne Isis (ASA)nti eri munyanja (lake) omusibuka omugga Kiyira teri Misiri wazira esingannibwa mu kitundu ky'e Mwanza
ekya. Tanzania Mbajje mu jjinja era eri mu azzi ku mpi nolukalu.Bishop Theodoros Nankyaama owa Uganda Orthodox Church yali amaanyi weeri
era yatuukawo era nagikuba nekifananyi .
Ekirina okwebuzibwa kiri nti obanga nga Namulondo eyigerwaako mu bya faayo bya Misiri eri Mwanza ,Obwakabaka bwe Buganda bwaali
bwenkanawa mukiseera Kabaka Mukasa weyafugira Obuganda?"


bya Fr.Mukiibi Buzinde Elias

Re:ABAGANDA BE BASOOKA OKUFUGA MISIRI 5 years, 11 months ago #1133

  • Mulongo
  • OFFLINE
  • Kasaayi
  • Posts: 1399
  • Karma: 5
Ndowozezza okugattako kano akatundu okuva mu Bible.

"Beyond the rivers of Sudan there is a land where the sound of wings are heard (Kiyiira). From that land ambassadors come down the Nile in boats made of reeds. Go back home, swift messegers! Take a message back to your land divided by rivers, to your strong and powerful nation, to your tall and smooth skinned people, who are feared all over the world."

Isaiah 18 chapter 1

N.B
The book of Isaiah is named after the great prophet who lived in Jerusalem in the latter half of the eighth century B.C. That is about 800 years before the birth of Christ.

Re:ABAGANDA BE BASOOKA OKUFUGA MISIRI 5 years, 9 months ago #2435

BUGANDA, MISIRI IS-RA-EL [PART TWO]

Nga bwetujukira ebyafayo bya Buganda ne Misiri ebya wandikibwa Rev. Fr. Dr. Elias Mukiibi Buzinde mu lupapula lwa mawulire olwo lulimi Oluganda oluyitibwa NGABO olwa Sunday nga 3 October 1993, ku lupapula namba 7, Abaganda be basooka okufuga ensi ya Misiri.

Kintu kikulu nyo okumanya ebyafaayo ebitukwatako newankubadde nga Abazungu bakoze kinene nyo okubibuzabuza okulabira ddala nga ffe aba Afrika tetuba na kinene mu byafaayo kye twenyumiririzaamu. Abazungu balina nerinya mu bunanfusi bwabwe obwo babuyita “Archeological Espionage”.

Newankubadde nga Archeological Espionage weri, waliwo Abazungu abalala abawandise ku nsonga eno nga balaga nti aba Misiri basibuka munsi eri ku nyanja Nnalubaale omugga Kiyira mwe guva okulaga e Misiri.

Soma ekitabo kya Budge Wallis kye yatuuma “The Book of the Dead”, Arkana Ediotion, ku lupapila 34-35. Osiris ne mukyalawe Isis webafugira Misiri nabo tebakirumamu. Bakyangusa kaati nti basibuka ku nsibuko ya mugga Kiyira (Buganda). Soma NGABO wa Sunday, 3 October 1993, olupapula namba 7.


BUGANDA, MISIRI IS-RA-EL [PART THREE]


Ekitibwa kya Buganda kyavadda. Nga Abaganda tebanaba kulamaga kulaga munsi oluvanyuma gyebaatuuma Musiri, basooka kwe kulakulanya mu kuyiiya ebya magezi agatali gamu. Mubiseera ebyo baali bamaze okuvumbula ebikwata kubyo kulyowa enyoyo gya bantu.

Baali bamaze okuzuula obulamu obulala nga abantu bamaze okuffa. Bakizuula nti waliwo obulamu obulala abantu bwe balagamu nga bayita mu kuzulira, okulamulwa, wamu nokuweebwa emirimbe munsi Katonda wabwe gye yabategekera okuyingiramu nga buli omu agiyingira kusinzira ku bikolwabye wano munsi eno.


Abantu abalala munsi eno yona baali ekyo tebanaba kukimanya, naddala Abazungi kuba bo baali tebanagunjuka kutuuka ku ddaala lya Baganda. Abaganda batekoma awo. Batekawo amateeka agabafuga. Batandikawo obukulembeze bwabwe. Bayiiya ebikwata ku ntalo wamu nengeri entalo gyezirina okulwanibwamu.

Bayiiya okuweesa ebyokulwanyisa okwo saako okuweesa ebyuma ebirala ebikozesebwa mukulima. Abaganda we batandikira okweyita aba Misiri baali bamanyi buli kintu kyemenye wagulu era nga tebanyigirwa munnoga wadde okwangangwa omulabe yena. Bino tubinya nga tusinzira ku byafayo ebizze bivumbulwa okuva mu ttaka, munpuku, mu nimi ezitali zimu nemubifo ebirala bye simenye.

Re:ABAGANDA BE BASOOKA OKUFUGA MISIRI 5 years, 5 months ago #4584

BUGANDA, MISIRI (Egypt), IS-RA-EL [PART FOUR]

As we all know, the culture of the Baganda People stretches back to pre-dynastic Egyptian time, the historical time before the building of the Pyramids in ancient Egypt. To understand the Baganda, examining their past first is critical. Throughout history, the Baganda have resisted being ruled by foreigners, yet they have maintained tolerance to others within their jurisdiction.
It is this practice that made the Baganda welcome Apollo Milton Obote and General Yoweri Museveni, and treated them as their own. Realistically speaking, neither Obote nor Museveni would have assumed power in Uganda absent the tolerance, and generosity of the Baganda People to those individuals. Unfortunately, the strangers never returned the favor to the Baganda as expected.

Instead, the welcomed strangers turned against the Baganda, and even tried to annihilate the essence of Buganda’s existence. The most recent example of the attempt by foreigners to wipe out Buganda and everything the Baganda treasure so much is Gen. Museveni’s increased anti-Baganda rhetoric. We see this, as more and more Baganda stand firm on ending Gen. Museveni’s two-decades-long dictatorship.
We can not forget the great contributions, which the ancient Baganda in Egypt made to the human civilization. There resolve to advance mankind came about through Baganda’s critical thinking and sacrifice. That same thinking is at works today, and is behind the measures that the Baganda are presently pursuing.

This is not new by the way. In the past, the ancient Baganda in Egypt rebelled against their own leaders, when they saw that the Egyptian institution of government and leadership has abandoned the core values on which civilized societies thrive. They went forward and created the Is Ra El (Israel) movement. However, they did not pursue that measure until the Egyptian leadership had lost touch with the masses.
From what was recorded, Moses was ordained by the Egyptian Bishops at Heliopolis. That was the center of the ancient Egyptian spiritual order. His primary mission was to free the oppressed Egyptian masses. He did as commissioned. From that rebellion came the Holy Torah, Bible, and Qur’an, which have influenced the beliefs of many souls allover the world. On the other hand, the sojourn of the Israelite s created a set of beliefs and practices for them. Chief among those beliefs is the idea that the Israelite People will never be safe unless they govern themselves.

The point here is that the history of the people who share a common ancient Israelite descent, have suffered the insufferable since the exodus from ancient Egypt. There have been many attempts to exterminate members of this Israelite race in various parts of the world. The Baganda People, and for that matter every sincere Israelite, should not be misunderstood in being persistent on maintaining self-rule policies.
Last Edit: 5 years, 5 months ago by Muyingo-Owomusu.

Re:ABAGANDA BE BASOOKA OKUFUGA MISIRI 5 years, 5 months ago #4611

  • Musajjalumbwa
  • OFFLINE
  • Kasaayi
  • EKITIIBWA KYA BUGANDA KYAAVA DDA
  • Posts: 1036
  • Karma: 9
Muyingo-Owomusu munnaffe webale kutuleetera ku byafaayo bino ebyedda ennyo. Obwongo bugaayeko tuzibuke amaaso.
EMPOLOGOMA EKUTUDDE OMUTEGO GW\'OMUYIZZI
  • Page:
  • 1
  • 2
Time to create page: 0.31 seconds
YouCMSAndBlog Module Generator Wizard Plugin