Baganda Radio
YouCMSAndBlog Module Generator Wizard Plugin
Welcome, Guest
Username Password: Remember me

Emibala Gy’ebika Gitambuza Abaganda
(1 viewing) (1) Guest
  • Page:
  • 1
  • 2

TOPIC: Emibala Gy’ebika Gitambuza Abaganda

Re:Emibala Gy’ebika Gitambuza Abaganda 4 years, 8 months ago #8267

  • Ndibassa
  • OFFLINE
  • Kkalubo
  • Posts: 890
  • Karma: 6
Mugeye mwattu twesiimye okuba naffe wano naye kyoyogedde kituufu mulimu abantu abamu aba bookinga ebintu mulugezigezi gwaate mwazze kulanya lwaaki oba osabiramu ebintu, mbu bwompa akawala nge byange biwedde.
Mugereka naye nawulirako abagamba nti bwoolya omuziro gwo osobola nokufa .
waliwo eyali ava eyo mu South Africa yalya ennyama yendiga naye nga yeddira kika kya ndiga kirala naye era yalwaala , nagenda ewo musawo waabwe owekinansi namuwa eddagala okugyeyozaamu

Re:Emibala Gy’ebika Gitambuza Abaganda 4 years, 8 months ago #8271

Ebika bya Buganda n'okweddira emiziro kyajjawo kitya era kyava ku nsnga ki? Abaganda abaliwo ku mulembe gwaffe guno abasinga obungi tebamanyi nsibuko ya Bika na Miziro wadde okumanya lwaki byatandikibwawo, kubanga olubereberye tebyaliwo abantu bwe baali bakyali batukuvu nga tebannayonoonekera mu kitambo ekyabakwaata ne bataamuukira mu kulya ennyama.

Leka tusooke tutunuulire ekigambo Ebika. Ebika ebyasookawo byali bitaano nga bisinziira ku bwakabaka bw'ebitonde obutaano obuliwo mu nsi muno. Obwakabaka obwo bwe buno:

a) Obwakabaka bwa Kintu ne Nnambi (Obwakabaka bwa Muntu)
b) Obwakabaka bwa Kisolo ne Nnassolo (obwakabaka bw'ebisolo)
c) Obwakabaka bwa Sseggi ne Nnaggi (Obwakabaka bw'ebitonde ebibiika obubiisi amagi ne geeyalulira ebweeru w'emibiri gyabyo, gamba ng'ebinyonyi, ebyewalula, n'ebyennyanja.
d) Obwakabaka bwa Kiwuka ne Nakiwuka (Obwakaba bw'ebiwuka)
e) Obwakabaka bwa Kimera ne Nakimera (obwakabaka bw'ebimera).

Mu buli kika kya Bwakabaka mwalondebwamu ekintu kimu ne bakifuula Omuziro gw'abantu. Mu bantu baatoolayo kye baayita enkubuka ne kikiikirira olulyo lw'obwakaba bw'abantu ku nsi.

Mu Bisolo ne balongayo Enjaza oba Engabi n'ekiikirira ebisolo.

Mu bibiiba amagi ne balongayo Ennyoyi Ennyange n'ekiikirira Obwakabaka bw'ebibiika amagi.

Mu biwuka ne balondamu Enseenene n'ekikiikiria obwakabaka bw'ebiwuka.

Ate mu bimera ne balondayo ekkobe oba akatinvuma ne kakiikiria obwakabaka bw'ebimera.

Olubereberye abantu nga bakyali batukuvu, tebaalyanga mmere wadde okunywa amazzi oba omubisi wabula baalyanga mukka-bukka. Era awo wewaava ekiromo ekikulu ennyo eky'Abedda Bakalimagezi Abasengejje okugamba nti, "Butassa mukka butassa mwoyo," kubanga obulamu bwayimirirangawo ku mukka-bukka. naye abantu bwe baatandika okulya emmere ey'oku nsi kuno, emibiri gyabwe ne gigenda nga guzitowa sso nga mu masooka gyali miwewufu ddala era nga tegirwaala na kulwaala. Okulya emmere n'okunywa bye byavaako obuwuka okuyingirira emibiri gyabwe olw'emmere okuvundiranga mu mbuto zaabwe. Leero Mulanga bwe yayigiriza Abaganda okulya ennyama y'ebisolo bye yayigganga ku ttale, olwo ne gujabagira; endwadde ne zeeyongera. Obulumi, ennaku n'okubonaabona ne biajja bingi mu nsi muno.

Ekyateekesaawo Ebika ebyo kwaaliokujjukizanga Abaganda (Abantu) obutatta n'obutalya bitonde naddala ebyo ebeyetambuza byokka. Bakalimagezi Abasengejje (Wise Sages) Abaali Abatuukirivu bwe baalaba ekyo kwe kuteekawo ebika n'emiziro bayambe abantu okwewala okulya ebitonde ebyo naddala ebyetambuza byokka. Omuziro kitegeeza ekyo ekisiiga omwoyogwo enziro ya kalumanywera. Kino kitegeeza nti bw'okirya oba weesiize enziro ku mwoyo era oba weetaddeko ebbanja kubanga ekyo ky'olidde kigenda kusaba okomewo ozaalibwa nga kyo nakyo kizaalibwe ng'omuntu kikutte kikulye. Eryo ly'Etteeka lya "Okalya dda kadda dda," erisangibwa mu mateeka g'Obutonzi.

Omuntu bwe yattanga oba bw'atta ekitonde ekyetambuza, omwoyo gw'ekitonde ekyo gumukkamu ne gujja guzaalibwa mu ye ate ye n'agenda azaalibwa mu gwo. Ekika kiva mu kigambo "Ekikka" mu ggwe nga kiva mu kubeera nti wakitta n'okirya ennyama.

Awo nno, ekyokulabirako: Ab'Engonge bakka mu kasolo akayitibwa Eng'onge oluvannyuma lwa Jjajjaabwe Kisolo okutta Eng'onge ne bagirya ennyama. Ekyo bwe kyabeerawo, Jjajjaabwe eyasooka okulya Eng'onge bwe yakka mu bulamu obw'Eng'onge, abaana n'abazzukulube tebaddayo kulya Ng'onge.

Newaakubadde ng'ebika byatandikibwawo olw'okuziyiza abantu okutta n'okulya ebitonde ebyatambuza, abantu bwe beeyongera obungi ne bagenda nga bongerako ku bungi bwemiziro kisobozese abantu okubeera n'ebibajjukiza obutalya bitonde ebyo. Olwo ebika ne biwera kkumi na bibiri, buli kika ne bakiteeka mu kabonero ak'ogumu ku Myezi Ekkumi n'Ebiri egiri mu Mwaka.

Oluvannyuma nga Bakalimagezi Abasengejje bamaze okwabulira olukalu olwafikkawo (Africa) ne balinnya mu nsi ez'enveera ezitalabika na maaso gano agomubiri omuzito, Bakabaka abaagenda baddawo baagenda bongerako ku bungi bw'Ebika oba Emiziro. Ku mulembe gwaffe, emizor oba Ebika kati biri amakumi ataano mu bibiri (52) mu Buganda kyokka ng'Abantu tebakyamanyi kyagendererwanga mu miziro oba ebika ebyo.

Ekyo okirabira ku kubeera nti buli abeddira ekika gundi balya ebika ebirala sso ng'olubereberye ekyo si bwe kyali. Mu kusooka abantu baali tebaliira ddala nyama wadde eby'ennyanja oba ebinyonyi n'ebiwuka. Okulya enkoko mu Buganda kwatandikira mu Mwami wa Kabaka e Kyaggwe eyagabula Kabaka Muteesa I ennyama y'enkoko.

Kabaka Muteesa I olwo n'atandika okugabulanga Abaami be ennyama y'enjoko. Olwo okulya enkoko ne kusaasaanira Obuganda kyokka era bo Abakazi baasigala tebalya nkoko okutuusa luno jjo mu myaka gy'enkaaga. Okiraba wadde mu Batoro, Abanyoro, Abahima n'Abatuusi okulya ennyama y'embuzi, endiga, embizzi, ebyennyanja oba ebinyonyi babitandise mu myaja gya kumpi egiyise. Okutta n'okulya ebitonde ebyo, nga bwe nnagamba mu kiwandiiko kyange ekimu gye buvuddeko, kwatandikira ku Mulanga mutabani wa Ssekabaka Kintu.

Tewaliiwo muganda nomu aliwo kati ku nsi ataliimu musaayi gwa bika byonna ebiriwo mu Buganda kubanga bajjajjaffe ne bakitaffe bagenze bawasa okuva mu bika ebirala. Bw'ogenda okebera mu myaka n'ebisiibo ensi gy'evudde oyinza okwesanga ng'omu ku bajjajjaabo yawasa omukazi ow'endiga ate ng'omulala yawasa omukazi ow'emmamba sso nga kitaawo yakuzaala ku mukazi wa nkima oba wa mbogo. Buli muziro tulina akakwaate nagwo era tulina omusaayi gw'abantu abaddiranga emiziro egy'enjawulo.

Kino kitwoleke nno nti Ebika byonna tubyeddira era tetusaanidde kubitta na kubirya nnyama era ekyo kye kyali ekigendererwa ekyateekesaawo ebika n'emiziro wamu n'Obubbiro; okutulabula tuleme okutta n'okulya ebitonde ebyo ebyetambuza byokka. Akabbiro katulabula tuleme "okubbira" mu kalumanywera y'okuyiwa omusaayi, okutta n'okulya ennyama y'ebitonde ebyo.

Mu bwakabaka bw'ebimera ate namwo mulimu ebimera ebitaliibwa kubanga bya butwa. Eky'okulabirako, obutiko obumu bulimu obutwa obuyinza okukutta. Awo nno, Ebika, Emiziro n'Obubbiro tuddeyo tubiyige buto tujja kusanga nga ffena tuli ba Luganda lumu. Abantu bangi wonna mu Africa beddira emiziro oba ebika ebifaananira ddala n'ebyaffe wano naye nga mu byonna, bonna beddira bitonde ebyetambuza. Okutuukira ddala wansi mu South Africa, aba Zulu beddira emiziro, balina ebika. Mu America, bannansangwa baayo (Native Americans) beddira emiziro balina ebika. Obutonde bw'abantu wonna mu nsi mu buwangwa obutangaavu, abantu bonna mu nsi baabeeranga n'Ebika oba emiziro anti okitegeera mangu kubanga Abantu bonna yonna mu mawanga gye bali baasibuka wano ku mawanga ageetolodde Ennyanja Nnalubaale (Uganda Tanzania,Kenya Rwanda-Burundi). Bannasayansi bakikakasa nti Abantu abaasookawo ku nsi yonna mukasansi (earth) baasibuka wano mu kitundu kino ekirimu Omugga Kagera (Nile River) n'Ennyanja eno Nnalubaale (Victoria).

Ako nga ke kabonero akatwoleka nti okuva edda nedda, Bajjajjaffe tebaattanga bitonde ebyo era tebaabiryanga nnyama kubanga baali bakimanyi nti munda mu bitonde ebyo namwo mulimu emyoyo egyasibirwamu nga bwe twasibirwa mu mibiri gy'obwomuntu.

Tewaliiwo atalootangako ng'ente oba ensolo endala nga emugobera mu Nsitulo. Ako kabonero akatulaga okuwoolera eggwanga ng'ebisolo bye twatta oba bye twalya ennyama bitugoba okuwoolera eggwanga! Tujjukire etteeka ly'Obutonzi nti, Atta munne balumutta! n'Eddala nti, "Kyenkola bannange ssaagala bakinkole nga kibi." Tuleme okwesiiga enziro. Kye kyatuweesa emiziro n'ebika.
Last Edit: 4 years, 8 months ago by Mulaka-Ntanzi-Mmilodi. Reason: additional info and typo errors

Re:Emibala Gy’ebika Gitambuza Abaganda 4 years, 8 months ago #8426

  • Omumbejja
  • OFFLINE
  • Bbalagavu
  • AWALI MUKAMA TEWALI KIREMA
  • Posts: 1814
  • Karma: 8
Omubala gw’emmamba gulangira Ndugwa bukodo



Abemmamba nga bayisa ebivvulu mu mipiira gy’ebika by’Abaganda omwaka oguwedde.

EMIBALA gy’ebika by’Abaganda tegiggwa malojja


olw’engeri gye giroopamu ebyafaayo byabyo ebyekusifu. Leero tukutuusaako ebyafaayo by’emibala egyewuunyisa: Ekika ky’Emmamba: Omubala gwabwe guvuga nti; ‘Kalya kokka Kalya kokka Ke keetenda obuly mpola! Sirya mmamba, amazzi nnywa! Eno si mmamba, nnamakata Gwe ndisanga mu menvu N’ebikuta alibirya.’

Omubala gw’Emmamba gwajja bwe guti; Gabunga omukulu w’ekika ky’Emmamba yali muliraanwa wa Mukiibi omukulu w’ekika ky’Olugave era baayigganga bombi omunyago ne bagugabana.

Ewa Mukiibi yabeerangayo ne mukyalawe n’abaana babiri ate ewa Gabunga nga waliyo lwebeeya. Kale bwe baagabananga ennyama, ewa Mukiibi yalwangawo okuggwaawo era ng’emu bagikolamu omukalo ne balyako mpola kyokka ewa Gabunga nga tesula.

Ekyasinga okwewuunyisa Mukiibi nga ne bwe baba Gabunga gwe basinze okuwa ennyama , era enkeera agenda okuwulira nga basekula binyeebwa. Bw’atyo Mukiibi yalowooza nti ewa Gabunga baliisa mululu nga bagujubana.

Mukiibi yalaba kimususseeko ate nga kwolwo tebasse, kwe kuddayo ewuwe n’aleega eng’oma eyeeya Gabunga n’okumulabula akendeeze ku mululu.

Eng’oma eyo yali evuga bw’eti; ‘Mulya ggujuba Mulya ggujuba Leero anaabulwa k’anaaliira’ Gabunga olwawulira eng’oma eyo n’amanya nti Mukiibi yali amuyeeya. Yasitukiramu n’aleega eyiye evuga nti, ‘Akalya kokka Akalya kokka Ke keetenda obulyampola.’

Yali ategeeza nti Mukiibi olwokuba alya yekka (n’abantu be abatono) ky’ava yeetenda okulya empola.

Abeffumbe:
Twalaba omubala ‘E Bakka basengejja’ nga gwajja mu ngeri ya kusaaga olwa Walusimbi okwagala okwesasuza obulimba bwa Mugema. Wabula Abeffumbe balina emibala emirala ebiri:

1. Galinnya e Bakka;

Bakka lusozi lugulumivu era ku lwo kwe kusangibwa obutaka bw’Abeffumbe obukulu Walusimbi gy’atuula. Amafumbe agali ku lusozi luno mangi ddala, kale galigita buligisi. Mu mubala guno ge gaba googerwako nti galinnya e Bakka.

2. Kakozaakoza anaakoza mu lw’effumbe;

Olwogerwako mu mubala guno luba luwombo. Guno omubala gukubiriza Abeffumbe okuba abeegendereza mu ngeri bbiri. Okusookera ddala, gubakubiriza obutamala galya buli nnyama gye basanze sikulwa nga balya effumbe.

Ekyokubiri, babalabula okuba abeegendereza nga baganza sikulwa nga baganza oba ne bawasa Abeffumbe bannaabwe.
Attachments:
I AIM TO PLEASE.............SOMETIMES
Last Edit: 4 years, 8 months ago by Omumbejja.

Re:Emibala Gy’ebika Gitambuza Abaganda 4 years, 7 months ago #8669

  • Namukaabya
  • OFFLINE
  • Omulekisandura
  • EKISA KITTA NE NGE ETTA
  • Posts: 669
  • Karma: 6
Abeng’onge: Balina emibala ebiri: Ogulojja eddalu ly’abakyala n’obumalirivu bw’abasajja

Bya Mariam Kyabangi

EMIBALA gy’ebika by’Abaganda tegikoma mu kucamula, wabula giroopa bingi ku bantu abeddira emiziro egy’enjawulo.

Eng’onge:
Omubala gw’Abeng’onge olubereberye gwavuganga nti, ‘Mwegali’. Olwo gwabanga gwogera ku mazzi agaabeeranga mu ndeku Oweng’onge gye yakwatiranga Kintu.

Ye nno lwa kugayita mazzi naye gwabanga mwenge. Awo we wava n’enjogera egamba nti, ‘akombye amazzi’ nga bategeeza nti atamidde. Kale Abeng’onge bwe baabuuzanga nti, ‘mwegali? baalinga bategeeza mwenge.

Oluvannyuma omubala gwabwe gwakyuka ne gutandika okuvuga nti,
‘Lwajjali, lwajjali’ ogwava ku nsibuko y’omugga Lwajjali ogugambibwa nti gwazaalibwa mukyala wa Ng’onge eyayitibwanga Nakirijja.

Olw’okwagala okulaga obusukkulumu bw’abakyala b’Eng’onge, kwe kukuba omubala ogwo.

Era balina omubala omulala oguvuga nti, ‘Bakyanjankete’. Guno gwava ku mulimu gwe balina mu Buganda anti be baasamiriranga omusambwa Kookolo ogusangibwa ku lusozi Kyanja mu Mawokota. Omusambwa ogwo gwali mukulu nnyo mu Buganda mu kuwonga endwadde enkambwe nga kookolo n’okutangira ebizibu ebyolekedde Obuganda.

Battanga ente ne baggyako eddiba ery’okubikka ku kyalo Kyanja. Ekikolwa ky’okuggya eddiba ku nte basobole okufuna enkete (eddiba) z’omusambwa kookolo kwe ‘kukyanja’ era Abeng’onge kwe baava okuyitibwa ‘Abakyanjankete’ we baasimbula n’omubala ogwo.

Abeng’onge okwawukanako ku bika ebirala, bakuba emibala ebiri; ogw’abawala n’ogw’abalenzi.

Mu gw’abawala baba batenda ddalu ly’abawala b’Eng’onge n’okukkaatiriza nti tebeepankirwako. Guvuga nti,

‘Ddala ddala bweza!
Lutaaya bweza!
Ssenkungu bweza!
Kitumba bweza!
Bya ddalu bya ddalu
Binakiwala bya ddalu!’


Ogwo ogukubirwa abalenzi gulaga obumalirivu bw’abasajja b’Eng’onge. Guvuga nti,
‘Ddala ddala bweza!
Lutaaya bweza!
Ssenkungu bweza!
Kitumba bweza!
Mu Lwajjali mwegali mw’esula,
Mw’eva n’etabaala!
Abakyanjankete beejaga
Be ppo ddogo, bwe galiba amafumu tuligendana.
Ekirimala abasajja, ziriba nnyago.’
AKUFUMBIRA EYO MUTWE NAAWE OMUFUMBIRA YA BIGERE MWENNA NEMWENKANYA EVVUMBE

Re:Emibala Gy’ebika Gitambuza Abaganda 4 years, 6 months ago #8725

  • Kulabako
  • OFFLINE
  • Kasaayi
  • Posts: 1061
  • Karma: 5
Omubala gw’Ekkobe gulaga bukuusa bwa baka Namwama

Bya Mariam Kyabangi

OBUKUUSA, enge n’ebikolwa eby’ettima nabyo Abaganda tebaabyerabira nga bagunja emibala gy’ebika. Bwe gutyo, omubala gw’Ekkobe gwayiiyizibwa okulangira abakyala abava mu ba bbaabwe ku ssaawa embi:

Ekkobe

Ekkobe mmere esangibwa mu lusuku era erandira ku bitooke. Omukulu w’Akasolya ye Namwama atuula e Buwama.

Akabbiro kaabwe Kaama era nayo mmere eyeemeza yokka mu ttale ne mu nsuku. Eno yeerandiza yokka era Abaganda baagigerako n’olugero olugamba nti, ‘Omunaku kaama yeerandiza yekka.’

Omubala gwabwe guvuga nti,

‘Kasonzi mulwadde!

Asindasinda

Omukazi leka eyo

Embwa gireete’


Omubala ogwo gwajja bwe guti;

Jjajja w’Abekkobe ayitibwa Ssebuliba yayagala nnyo embwa kubanga yo teyamwabulira mu kaseera akazibu.

Ku mulembe gwa Ssekabaka Ssemakookiro bwe yali alwana ne mugandawe Jjunju, abalaguzi baamulagula nti azimbe enju ey’ekiggweerawo (ezimbwa mu lunaku lumu n’eggwa), agyokeremu omuntu nti era omuntu oyo bw’alifiira mu nju eyo, olutalo Ssemakookiro tajja kuluwangula. Wabula buli gwe yagambanga okuyingira mu nju ng’agaana ng’agamba nti atya okufa. Kyokka Namwama Ssebuliba ye yayingira.

Bakyala ba Namwama baagaana okuyingira naye mu nju era yayingira na mbwa ye yokka. Eky’omukisa, Namwama mu nju teyafiiramu era ne Ssemakookiro olutalo n’aluwangula.

Olutalo olwaggwa, Namwama n’aleega eng’oma ye n’ayongeramu akawaayiro akagamba nti, ‘Omukazi leka eyo, embwa gireete’ ng’asiima ekikolwa ky’embwa ye eyayingira naye mu nju n’eraga obuzira.

Re:Emibala Gy’ebika Gitambuza Abaganda 4 years, 6 months ago #8726

  • Kulabako
  • OFFLINE
  • Kasaayi
  • Posts: 1061
  • Karma: 5
Enkula
Omukulu w’ekika ky’Enkula ye Muwangi, atuula e Lwentunga - Kapeeka mu Bulemeezi. Okujja mu Buganda bajja ne Ssekabaka Kimera okuva e Kibulala mu Bunyoro.

Akabbiro kaabwe katiko ka Nassogolero.

Omubala gwabwe guvuga nti,

‘Wankula tatya takyuka,

Wankula yambala amayembe

Wankula asimbye ejjembe oba,

Wankula ssejjembelimu takyuka’

Omubala gwabwe gutendereza n’okukubiriza Abenkula okuba abavumu era abamalirivu mu bye bakola mpozzi okufaananako ng’enkula.


Era gubayigiriza okubeera abeeteefuteefu okwerwanako mu buzibu. Kino bakiggya ku buvumu enkula bw’ekozesa mu kulwanyisa abalabe baayo ababa baagala ejjembe lyayo.

Ejjembe ly’enkula kimu ku byobugagga eby’amaanyi n’abafuzi b’amatwale bye baaweenjanga okukamala nga bazze mu Afrika era lya ttunzi nnyo. Kyokka enkula teyeetuulako kulinda balabe baayo kugitta batyo ffa, yeerwanako era agitta amala kusiitaana.

Noolwekyo, omubala gwabwe era gubakubiriza okulwanirira ebyobugagga byabwe.

Published on: Saturday, 10th April, 2010
  • Page:
  • 1
  • 2
Time to create page: 0.28 seconds
YouCMSAndBlog Module Generator Wizard Plugin