Baganda Radio
YouCMSAndBlog Module Generator Wizard Plugin
Welcome, Guest
Username Password: Remember me
  • Page:
  • 1

TOPIC: EBIKA BYA BAGANDA

EBIKA BYA BAGANDA 5 years, 4 months ago #4898

  • Kulabako
  • OFFLINE
  • Kasaayi
  • Posts: 1061
  • Karma: 5


List of the Clans of Buganda
Clan/Totem Secondary Totem Clan Head Seat
(Ekika) (Akabbiro) (Owakasolya) (Obutaka)

1 Abalangira - Ssaabataka Kaliiti, Busiro

2Babiito-Kooki Mazzi ga Kisasi Sababiito Rakai kooki

3 Babiito-Kiziba ? Lutayinzibwa Ssanje Buddu

4 Babiito-Kibulala ? Kitahimbwa Kibulala, Ssingo

5 Butiko Namulondo Ggunju Bukalango, Busiro

6 Ffumbe Kikere Walusimbi Bakka, Busiro

7 Kasimba Ngo Kabazzi Kyango, Mawokota

8 Kayozi Nsombabyuma Kafumu Kyango, Mawokota

9 Kibe Kassukussuku Muyige Buluutwe, Kyaggwe

10 Kinyomo Mutima Nakigoye Kyasa, Buddu

11 Kiwere Sekafu Luwonko Kitanda, Bugangazzi

12 Kkobe Kaama Namwama Buwama, Mawokota

13 Lugave Maleere Ndugwa Katende, Mawokota

14 Mazzi ga Kisasi Ggongolo Wooyo Kasaka, Buddu

15 Mbogo Ndeerwe Kayiira Gaajuule Mugulu, Ssingo

16 Mbwa Kyuma kya Mbwa Mutasingwa Kiggwa, Busujju

17 Mmamba Muguya Gabunga Ssagala, Busiro

18 Mpeewo Kayozi Kiggye Kkungu, Kyaddondo

19 Mpindi Kiyindiru Mazige Muyenje, Busiro

20 Mpologoma Ngo Namuguzi Kasagga, Bulemeezi

21 Musu Kayozi Muyingo Ssama, Mawokota

22 Mutima Mawuggwe Kakeeto Bbaale, Buddu

23 Nakinsige Kkunguvvu Kyeyune Mirembe, Kyaggwe

24 Ndiga Mpologoma Lwomwa Mbaale, Mawokota

25 Ndiisa Namunye Mulindwa Mukungwe, Buddu

26 Ngabi Jjerengesa Nsamba Lukonge Buwanda, Mawokota

27 Ng'aali Kasanke akeeru Mawesano Buzooba, Buddu

28 Ngeye Kunguvvu Kasujja Busujja, Busiro

29 Ngo Kasimba Muteesasira Bukesa, Butambala

30 Ngonge Kaneene Kisolo Lweza, Busujju

31 Njaza Ngujulu Kitanda Kirungu, Kyaggwe

32 Njobe Bugaala Kiyise Mpummudde, Ssingo

33 Njovu Nvubu Mukalo Kambugu, Busiro

34 Nkejje Nkejje Kiyemba Kikwata Namukuma, Kyaggwe

35 Nkerebwe Kikirikisi Kidimbo Budimbo, Ssingo

36 Nkima Byenda Mugema Bbira, Busiro

37 Nkula ? Muwangi Mayobe, Bugerere

38 Nnamung'oona Mutima Kajjabuwongwa Kyabuwangwa, Ggomba

39 Nnyonyi Nnyange Kkunguvvu Kakoto-Mbaziira Bulimu, Kyaggwe

40 Nseenene Nabangogoma Mugalula Kisozi, Ggomba

41 Nsuma Kasulubbana Kibondwe Bukibondwe, Buvuma

42 Nswaswa Goonya Mayengo Bugabo, Buvuma

43 Ntalaganya Maleere Bbambaga Bbambaga, Bulemeezi

44 Nte Ng'aali Katongole Mulema, Buddu

45 Nvubu Njovu Kayita Mbazzi, Kyaggwe

46 Nvuma Katinvuma Kyaddondo Kawempe, Kyaddondo
The following clans completing the list of 52 did not appear on the official roster of August 1996.

47 Kasanke ? Kyanku ?

48 Kibuba ? Nnyanja ?

49 Lukato Kabbokasa Magunda/Lyongera Kisuza/Kiziba, Buweekula

50 Mbuzi ? Kisunsu Muwunune

51 Nkebuka ? Kayizzi ?

52 Nsunu ? Kabugira

From Buganda Post
Last Edit: 5 years, 4 months ago by Kulabako.

Re:EBIKA BYA BAGANDA 5 years, 2 months ago #5884

  • Ndibassa
  • OFFLINE
  • Kkalubo
  • Posts: 890
  • Karma: 6
Vvulugu mu Bika by’Abaganda
Wednesday, 17 June 2009 12:21



lAbataka b’obusolya bangi baalya nsowole lEmisango mu kkooti ya Kisekwa gisoba mu 25
[Kkooti ya Kisekwa ng’ewulira omusango gw’e Ngeye e Busujja.] EBIKA ge masiga okwesigamye Obwakabaka bwa Buganda wabula ebisinga birimu enkaayana.

Ku Bika 56 ebiri mu Buganda, kimu ku buli bibiri, birimu enkaayana. Mu bimu enkaayana ziri ku busolya, ate awalala ziri mu masiga gaabyo. Bukedde alaze enkaayana eziri mu Bika ekibifudde ebitakyalina makulu.

EBIKA bya Buganda y’entabiro ya buli Muganda wabula ensangi zino bijjudde emivuyo egya buli kika.
Ebisinga byaliibwa nsowole, ebirala bisenseddwa ‘abagwira’ era amannya gaabyo bageetuuma kyere!

Sso ng’Ebika lwe lujegere olunyweza Buganda. Abamu bagamba nti ne Mmengo ekoze kinene okubifeebya, bw’eyisaamu amaaso Abataka b’obusolya; abalala balumiriza nti okusaanawo kw’obuwangwa kuva Mmengo ne kubuna mu Baganda bonna.

Edda ng’Omuganda owa wansi ensonga ze ayinza okuziyisa mu Kika kye ne zituuka ewa Kabaka era ne zikolebwako, ate ng’abalala baziyisa mu baami n’Abamasaza.

Naye ensi bw’egenze ekula, Abaganda abamu ne basuula Ebika byabwe. Abamu beekwata ddiini era gye batwala ng’Ekika, abalala bwe baasoma kati bawasa n’abandibadde bannyinaabwe mu Bika.
Ate abakazi bwe bafunye omuze gw’okwetunda ku nguudo, kati tokyamanya oba gwe weegatta naye mwannyoko.


Kyokka waliwo nnamuginga ayingiridde Ebika era agenda okubisaanyaawo. Abataka ababikulira banyoolagana ne bazzukulu baabwe kubanga bangi baalya nsowole. Kino kiri mu buli Kika!

Abataka okuva ku mpya, ennyiriri, emituba n’amasiga bali mu nkaayana. Okumala eggobe mu kibya n’obukulu bw’Ebika nabwo bukaayanirwa!

Abataka bangi ne bakatikkiro baabwe abamu baalya nsowole, era enkaayana bwe zigenze mu maaso, Ebika ebimu ne byetundako n’obutaka, ekyabanga ekivve mu Buganda.

Olukujjukujju mu kika ky’Engeye
Enkaayana mu Ngeye zimaze emyaka 6 ng’abamu balumiriza nti Kasujja aliko yalya nsowole. Bazzukulu ba Kalutte abakulemberwa George William Mayanja bagamba nti aba Museruka abakulirwa Katikkiro Omutaka Joseph Kabaalu baakozesa lukujjukujju okutuuza F.X. Kasule Kyesimba eyali Kasujja eyafa mu 2004 ku bukulu bw’Ekika.

Kasule bwe yafa, Kabaalu abadde akozesa lukujjukujju okutuuza mutabani wa Kasule, Charles Kasule ku Bwakasujja.

Kkooti ya Kisekwa (etawulula enkaayana mu Bika by’Abaganda) yadde etudde mu nsonga, naye bazzukulu ba Museruka bagamba nti ewulira bubi omusango, erimu kyekubira.

Baajulira n’ewa Kabaka nga basaba kkooti ya Kisekwa eve mu musango guno olw’okugoba obujulizi bw’owessiga lya Bakazirwendo. Kyokka Kabaka yalagira gugende mu maaso.

Enkaayana mu Kika ky’Engeye ziri ne ku Butaka bwabwe e Busujja. Bazzukulu ba Museruka baagenda e Busujja ne bakola amalaalo agamu ne bagassaako amannya okulaga nti ga Bakasujja, bazzukulu ba Kalutte be bagamba nti babicupuli!

Omutaka Mminge Kibirige, akolanga ow’omutuba gwa Kalutte era eyatwala kkooti ya Kisekwa e Busujja agamba nti n’entaana ya Kasokolindo eyaliko Kasujja tebaagisiba sseminti, entuufu yameramu ekiswa n’emiti naye egy’enkoma, naye aba Museruka bwe baamanya nti kkooti ejja kugenda erambule Obutaka ne basiba sseminti awatali mufu!

Olaba n’eyali omupakasi wa Kasokolindo naye baamusiba sseminti ne bamulaga nti naye Kasujja!

Abenvubu kata bakubagane

Ekika ky’Envubu emyaka kikunukkiriza mu mukaaga nga tekirina mukulu wa Kika ayitibwa Kayita. Eyeeyita Kayita, Emmanuel Makaabugo Musoke yalagirwa dda kkooti ya Kisekwa ave ku bukulu bw’Ekika kubanga yalya nsowole naye n’alemerako!

Omugenzi George William Nsikoteyomba ye yawaaba omusango ng’agamba nti taata wa Makaabugo eyafa mu 1997 Obwakayita yali yabulya nsowole.

Era mu 1997, Makaabugo bwe yatwala omulambo gwa kitaawe guziikibwe e Mbazi mu Kyaggwe ku Butaka bwabwe, Abenvubu baagumugobya nga n’emiggo kwe batadde okugimenya, era yaguziika ku mulirwano!
Era kkooti ya Kisekwa yasala omusango gye buvuddeko ng’eraga nti Makaabugo si Kayita mutuufu, wabula Nsikoteyomba ye mutuufu!

Kyokka Nsikoteyomba yafa n’aleka nga Makaabugo ajulidde ewa Kabaka. Mu 2005, Kabaka aba agenda okutyemula omusango, fayiro z’omusango guno ezaalimu ensala yaagwo (eya Kabaka n’eya Kisekwa) ne zibbibwa. Kati guli awo, Makaabugo y’alabula ku Bwakayita obw’ebicupuli!

Ani Namwama omutuufu?
Mu Kika ky’Ekkobe, Omutaka Namwama bwe yafa mu 2008, mutabani we Kiragga abazzukulu baamugaanirawo nti nsowole, nga kutaawe bwe yali!

Omutaka Kyana, jjajja w’Abekkobe yayanguwa mangu okukuba Kiragga mu kkooti ya Kisekwa ng’agamba nti baakafuula kagenderere okwewang’amya ku bukulu bw’Ekika.

Kkooti ya Kisekwa yamugoba dda ku Butaka, naye ye agamba nti yajulira ewa Kabaka. Kyokka kigambibwa nti fayiro y’okujulira kwe ewa Kabaka teriiyo!

Ekika kyalonda Augustine Mutumba nga Namwama omutuufu, naye kati kibadde kikulemberwa Banamwama babiri okutuusa Kiragga lw’afudde!

Omwezi oguwedde, omumyuka wa Katikkiro, Hajji Yusufu Nsubuga Nsambu yagaana abantu ba Kiragga okwabya olumbe lwe ng’olw’omukulu w’Ekika. Kyokka akolanga Katikkiro w’ekika Polof. Munakukaama yawagirwa omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka Nakirembeka Allan Waliggo ne batuuza mutabani w’omugenzi nga Namwama era n’omukolo ne bagwetabako mu bujjuvu!

“Olaba baamukozeeko n’emikolo gy’okulayira ng’alayiza Pulezidenti egitali mu nnono!,” omu ku Bataka bwe yang’ambye.

Ekiri mu Mmamba kifumba mutuku!

Okuva Omutaka Gabunga Yosia Kasozi afa ku ntandikwa y’omwaka guno, Emmamba ya Gabunga yagwamu nnabe.

Mutabani we eyamusikira, Gabunga Mubiru afunye okusomoozebwa kuba baganda be nga bali wamu n’abamu ku Bataka b’amasiga bamuwakanya. Bagamba nti mukulu we ye yali asaanye okubeera Gabunga.
Embiranye yatandika omulambo gwa Yosia gukyali mu ddiiro, era abamu ku baana baagusibirayo mu nnyumba nga tebaagala Mubiru abikke kabugo.

“Si buli Kika nti kibikka akabugo, ffe mu Mmamba tetukabika, kale ogwo omukolo Mubiru yakola mukyamu,” omu ku Bataka bwe yagambye.

Katemba ali mu nsi, kuba Ekika kyakutulwamu ebiwayi bibiri! Emmamba Kakoboza ekulemberwa Omutaka Nankere yatongozebwa ng’Ekika mu 2005, kati bali ku mbiranye n’aba Gabunga.
Gabunga we yafiira ng’amasiga g’Ekika kye mangi agaalina emirimu emikulu ewa Kabaka geegasse ku Nankere!

Mu kiseera kino, Omutaka Nankere Kanoonya Ntutumo yeegattiddwaako amasiga ga Gabunga omuli erya Kirulu e Bwerenga, erya Mugula e Ntebe, erya Kasiga e Bbendegere omuva Omutaka Ssemanobe akola emikolo ku Kabaka.

Amalala kuliko erya Miiro e Zzinga, erya Naabugwaamu, erya Mbajja nga kino kiraga nti Emmamba ya Gabunga esigazza omulimu gumu gwokka gwa kukulira mpingu ya Kabaka etekyaliwo.

Aba Nakinsige tebalina wa kasolya!
Kyeyune (omukulu w’Ekika kino) Samuel Bugingo yafa mu 2001. Omutaka Musa Kalegga owessiga lya Kafuuma yawawaabira Katikkiro w’Ekika, Kassim Kyeyune n’owessiga lya Ssemmanda erivaamu abalya obukulu bw’Ekika kino nga agamba nti balina olukwe okutuuza mutabani wa Bugingo ku bukulu buno sso nga Obwakyeyune yali abulidde nsowole.

Katikkiro Kassim Kyeyune agamba nti, “Bazzukulu bange abo bansobera, n’okutuuka okunkuba mu mbuga lwakuba tebaagala bannaabwe abava mu famire ya Bugingo kulya bukulu olw’okuba tebaasoma ate nga baavu!”

Abomutima
Omutima Omuyanja ogukulirwa Omutaka Namugera Kakeeto e Bbaale nabo baneneng’ana. Mikidaadi Ddamulira ow’omutuba omukulu ogwa Bwanika omuva abalya Obwakakeeto baawawaabira ali ku bukulu bw’Ekika kino Nicholas Kaseekende Namugera owa 45.

Mikidaadi agamba nti Kaseekende yasikira kitaawe Hussein Ddamulira Namugera owa 44 kyokka nga naye obukulu bw’Ekika kino yali abulidde nsowole.

Omusango gwaloopebwa mu 1998 ne gusalwa mu 1999 ne gusinga Namugera owa 44 kyokka jjuuzi nga April 5 2005 Kabaka n’asalawo nti kkooti ya Kisekwa eyali ekulemberwa omugenzi Albert George Kalanzi teyasala mu bwenkanya.

Kabaka yalagidde kkooti ya Kisekwa kati ekulemberwa Omulamuzi J.C. Ssempebwa okuddamu ewulire omusango guno. Na buli kati gukyawulirwa.

Abeng’onge baloopye omukulu w’Ekika
Mu Kika ky’Eng’onge bazzukulu ba Kisolo abava mu Mutuba gwa Katama oguli mu Ssiga lya ssenkungu baawawaabidde olukiiko lw’Ekika nti luyitirizza okuwozesa omusango gw’obukulu bw’essiga lya Ssenkungu ate nga gwali gwasalwa dda Ssekabaka Chwa II.
Francis Nalukoola ne Samuel Kisaabagire Kisolo (akulira Ekika ky’Eng’onge) nti mu 1996 yawa obukulu bw’essiga lya Ssenkungu eri omuntu atalina kulituulako.

Omusango gwabwe guzze guwulirwa okuva mu 1914, ne guddibwamu mu 1939, 1956, 1996, ne gwekyusiza bazzukulu ba Katama!

Oli wa Ndugwa ow’e Kibuye oba w’e Katende?
Aboolugave nabo baneneng’ana, era abamu mu kiseera kino bagamba nti tebalina Ndugwa mutuufu!
Grace Ssemakula okuva emabega azze akaayana ne Alexander Katende (yafa) eyali alumiriza Ssemakula nti yalya nsowole.

Ssemakula yategeeza gye buvuddeko nti ye yatuuzibwa ku bukulu bw’Ekika mu butongole oluvannyuma lw’Abataka mu kiseera ekyo okutuula ne basalawo nti eyali omukulu w’Ekika, Alexander Katende yali amaze ebbanga ddene ebweru w’eggwanga nga tatuukiriza mirimu gya Kika.

Omugenzi Juma Katende eyabeeranga e Nakulabye era akulira Essiga lya Natiigo ye yali ennyo mu bintu bino. Abamu bagamba nti naye yali nsowole mu Ssiga eryo!

Mu Kika ky’Olugave, Omutaka Natiigo y’asumikira Ndugwa era y’abeera Katikkiro waakyo. Kyokka gye buvuddeko Natiigo aliko, Godfrey Katende yali ateekateeka okutuuza Ndugwa omuggya (era eyali mutabani wa Alexander Katende) n’afa.

Ate bwe baamuziika abantu abataategeerekeka baamuziikulayo, omulambo gwe ne bagwokya!

Abembwa omusango gwabwe gwasalwa dda Kisekwa. Wabula Omutaka Mutasingwa kati Ekika akiramula nga talina fayiro za bintu bikikwatako!

God Mukasa eyali yeewang’amya ku bukulu buno fayiro yazigaanira era Mutasingwa Gguluddene bitono by’amanyi ku Kika kye!

Gguluddene yaloopye, ayagala batabani ba Mukasa bamuwe fayiro, naye nabo baziremedde.

Abengabi ya Nsamba bakaayana n’Abengabi Ennyunga abaasaba beeyawuleko era Kabaka n’abatongoza. Embiranye yaabwe kati eri mu mannya. Abengabi ya Nsamba tebaagala Bayunga batuume mannya gaabwe. Bwe bagaguggubirako olwo baba baasigala mu Nsamba!

Ate bazzukulu ba Muteesaasira (Abengo) baagala kuloopa Katikkiro waabwe, Omutaka Kavuma nti yeegwanyisa Obwamuteesaasira!

Omukulu w’Ekika Namuyimba Mutesaasira yafa mu 2001, kyokka Katikkiro yagaana okutuusa Muteesaasira omulala. Buli kimu ekyandibadde kikolebwa Muteesaasira, Katikkiro y’akikola.

Mu Kika ky’Enseenene,
bazzukulu ba Kalibbala e Nsiisi mu Busujju bakaayana n’aba Mugalula e Kisozi.
Aba Mugalula bagamba nti nabo Kika ekyetongodde, sso ng’okusinziira ku nsala ezizze zibaawo okuva ku mulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa II, Ekika kino kiri kimu.

Ssekabaka Chwa II yalagira nti Mugalula e Kisozi akole Essiga libeere wansi wa Kalibbala!

Aba Ng’aali nabo balumagana, abamu ku bazzukulu ba Mawesano bagamba nti Mawesano aliko kati si ye mutuufu.

Abalala abakaayana mulimu Abeffumbe, Abenkima, aba Namung’oona gye bagamba nti omukulu w’akasolya musajja Mutooro era nti atunze ettaka ly’Ekika e Nansana kumpi kulimalawo; Abempologoma bakaayana, n’Ebika ebirala. Ate Ebika ebisinga birina enkaayana mu Masiga n’Emituba.

Era osanga eno y’ensonga lwaki Abaganda bangi tebakyamanyi Bika byabwe wabula kye bayita Ekika ye famire yaabwe yokka. e
Attachments:
Last Edit: 5 years, 2 months ago by Ndibassa.

Re:EBIKA BYA BAGANDA 5 years, 2 months ago #5894

  • Omumbejja
  • OFFLINE
  • Bbalagavu
  • AWALI MUKAMA TEWALI KIREMA
  • Posts: 1814
  • Karma: 8
Bino byonna ebibireese bebagwiira abajja okujjawo Obuganda era singa mubuli awali enkayana ojja kwesanga nga mulimu abantu abagwiira abekyeyingiza lwaaki bino byonna bibaawo kati nga buganda eyingiddemu ekitabuli kuno kwonna okutunda ebijja wamu nobutaka wakli obiwulidde waluli nga buganda ekyaali yokka nga kyekolera ku nsonga zaayo , abantu kyebatamanya nti amawanga agayingirira banaabwe bo basigala bekutte katu ekibaleeta muBuganda Baganda kubajjawo bo basigalewo nga beyagalira mu nsi yaffe naye
Kino kyekibadde tekinategerebwa Baganda bejjako ebyaabwe nababiwa abagwiira, nga tebamanyi nti webigweera bebajja okufuuka emombooze mu nsi yaabwe , bwaaba omuntu wammwe yatunze ebintu byekika kyammwe nga temumaze kutuula kwetaasa oyo omuntu aba akibagamba mu lwaatu nti takyaali wammwe nolweekyo nammwe mumwegobako nga temumukwatidde kisa kuba naye taba nakyo bwaaba atunda ekya bonna ye yemalire ekizibu kye nga tabalowozezaako.
Attachments:
  • Attachment (0KB)
  • Attachment (0KB)
I AIM TO PLEASE.............SOMETIMES

Re:EBIKA BYA BAGANDA 4 years, 5 months ago #8619

  • Mulongo
  • OFFLINE
  • Kasaayi
  • Posts: 1399
  • Karma: 5
Banaalonda
Bya LWANGA KAMERE
Sunday, 21 March 2010
BAZZUKULU ba Mugema ab’Enkima mu ggombolola y’e Nabweru, Wakiso bali mu keetalo k’okulonda omubaka wa Mugema mu kitundu ekyo oluvannyuma lw’abadde omukiise okufa gye buvuddeko.

Omu ku bakulidde enteekateeka eno Herbert M. Lukwago yagambye nti tebannasalawo lunaku lutuufu kubanga bakyanoonya omuntu alina ebisaanyizo nga mufumbo alina amaka era ng’abadde agoberera eby’Enkima byonna.

Christopher Lule Nakabaale abadde akiikirira Mugema nga mutuuze w’e Ttula, Maganjo yafa gye buvuddeko. Ekitundu kirimu bazzukulu ba Mugema bangi naddala ab’essiga lya Kawuki.

Re:EBIKA BYA BAGANDA 4 years, 5 months ago #8630

Ssebo Omumbejja nkwebaza ebigambobyo ebirungi ebikubiriza Abaganda ffenna okwerwanako mu nsonga z'Ebika byaffe wonna mu Buganda nga twegobako abagwiira abalabika okuba nga bayingiridde n'Ebika bino.

Naye nze ndowooza nti waliwo n'ensonga endala eziwerako eziviiriddeko ebika byaffe okujjula enkaayana, n'okudda emabega mu kifo ky'okugenda mu maaso n'okukulaakulanya Buganda.

Mu kulaba okwange, zino zezimu ku nsonga ze ndowooza nga ze zireese obuzibu mu Bika byaffe Abaganda:

1. Obungi bw'abantu: ku mirembe egyayita Abaganda twali batono. Kati tukutte mu bukadde mukaaga 6,000,000 bulamba. Emirundi mingi, abantu gye bakoma okubeera abangi ennyo, n'emize n'empisa embi oba encaafu gye zikoma okweyongera mu bantu abangi. Emize emicaafu gyeyongedde nnyo wonna mu Buganda bwe kityo ne mu Bika byaffe byonna.

Oyinza okusanga ng'Ekika kimu kirimu abantu emitwalo 100,000 era nga okutwalira awamu buli kika kya Buganda (average) kati kiweramu abantu emitwalo kkumi sso nga edda gamba ku mulembe gwa Ssekabaka Sir Edward Muteesa II, Buganda yalimu abantu nga tebawera kakadde kamu oba kamu n'ekitundu. Ekyo kitegeeza nti okutwalira awamu buli kika kyalimu abantu 26,000 bokka!

Buganda ng'Obwakabaka olw'engozoobana ezajjawo nnadala oluvannyuma lwa Dr. Obote okuwere Obwakabaka mu Uganda, Obuganda tebubadde na ntegeka nkuukuutivu okwezimba n'okwenyweza nga bwe kyandibadde.

Eby'obufuzi bwe bigenze byeyongera okukula mu Uganda, bikoze kinene nnyo okunafuya Obuganda olw'embeera z'ebyobufuzi bwa Uganda.

Mu kino Abaganda ne Ssaabasajja Kabaka omulimu gw'okwefungiza okunyweza Obuganda mu Buwangwa bwaffe ddimu ddene naye eririra okukolebwa ffe abaliwo tuleme kulirinza baana na bazzukulu baffe.

Okusobola okukola kino, Ssaabasajja Kabaka yandiragidde Munnamateeka wa Buganda (Attorney General) okubagawo amateeka okunaatambuliranga Ebika bya Buganda; amateeka kwe bifugirwa nga gasinziira mu Buwangwa bwaffe kyokka galungamizibwa ku mateeka ga gavumenti ya Uganda kino kituyambe obutamenya mateeka kubanga Abaganda bangi gye bakomye okusoma gye bakomye okunyooma eby'Obuwangwa bwabwe ne kiba nga bayinza okulekawo ensala y'embuga ya Kisekwa ne bagenda mu mateeka ga Uganda ne gajja gasalawo bulala nnyo.

Okwewala ekyo, Attorney General ng'akolagana ne Mbuga ya Kisekwa abagewo amateeka amapya amagumu ddala okunaatambulirwanga Embuga y'Ebika. Abaganda tuteekeddwa okukebuka; tutambule n'omulembe nga tweyambisa eby'omulembe okunyweza eby'Obuwangwa byaffe.

2. Omululu; Abaganda bwe tugenze tweyongera obungi bwe gityo nemize n'emoisa embi gye zikomye okweyongera. Omululu gw'ebyenfuna yemu ku nsonga evaako enkayaana mu Bika byaffe. Abaagala okulya bangi ate nga tebalina mutima na akwettanira bya Buwangwa byaffe okukuza Obwakabaka bwaffe.

3. Okweyagaliza Ebitiibwa. Abantu abamu balowooleza mu kufuna bitiibwa ne batamanya nti okubeera Omukulu w'Ekika oba ow'Akasolya, Essiga oba Omutuba tekibeera bubeezi kitiibwa naye ekigendererwa kuba kuweereza bantu abali mu Bika ebyo. Abaganda abakulira ebika mu ndukalukamba (organizational structure) yaabyo okuva ku Kasolya okutuuka ku nnyiriri basaanidde bakulembeze mutima gwa kuweerea bantu baabwe okusinga okunoonya okwekkusa oba okunoonya ebitiibwa.

4. Buganda ng'Obwakabaka bwanafuyizibwa nnyo Amateeka ga Uganda kubanga amateeka g'Ebika tegaliimu maanyi era tegakola kubanga bwe gakontana n'Amateeka ga Uganda, aga Uganda ge gafuga. Ebika oba Obwakabaka tebusobola kusiba Muganda mu nkomyo ng'amenye empisa ya Buganda oba etteeka ly'Ekika.

Ekintu kino kikulu nnyo kubanga kitegeeza nti mu mateeka g'Ebika byaffe, tetulina buyinza bukangavvula muntu era ky'ova olaba nga abantu abamu ne bwe baggibwako balemerako kubanga bamanyi tolina ky'ogenda kubakola. Ne Ssaabasajja Kabaka talina ky'agenda kubakola kubanga yaggibwako obuyinza obw'obufuzi.

Kunsonga eno, Munnamateeka w'Obuganda asaanidde anoonyewo engeri Obuganda gye busobola okukangavvulamu Omuntu yenna okulaba nga amateeka g'Obuwangwa bwe gasala nti gundi ye w'Omutuba Omutuufu nga bwe kityo bwe kibeera era ssinga oli abaddeko alemerako ng'ayinza ate okuwaabirwa mu mateeka gali aganaamukangavvula olw'okunyooma ekitiibwa kya Ssaabasajja Kabaka n'Obuwangwa bwa Buganda.

Bwe tunaalemera mu by'ekinnansi n'obuwangwa obutakyasobola kututambuza kugenda mu maaso ne tulemwa okutunuulira Obwakabaka obulala n'Ebibiina ebirala wonna mu nsi gye bigenze byekulaakulanya n'okwenyweza mu buwangwa bwabwe mu ngeri ey'amateeka agakola, Obuganda bujja kufeeba n'Obuwangwa bwaffe busigala mu ngero. Ekyo kikafuuwe! Kikafuuwe!Kikafuuwe!

Obuganda buteekwa okubeerako n'Amateeka amawandiike gssomwe mu masomero ga Buganda mu Ntegeka ez'enjawulo (special programs) abaganda bagayige bagafunemu amabaluwa basobole okugonjoolanga emisango gy'Ebika bya Buganda n'okukuuma Obuwangwa bwaffe. Olaba n'Eddiini Enkatolika kino yakikenga bukyali n'eteekawo Amateeka agaayo agayitibwa Canon Law agafuga Bannaddiini Abasasedooti bonna era Oli bw'agamenya Eddiini Katolika emukangavvula.

Tekiriimu kabi Obuganda okuwandiisa Ebifa byaffe mu butongole mu nkola ey'Amateeka bibeere ne Memorandum and Articles of Association oba amateeka kwe bitambulira ng'amateeka ago mawandiike. Kino kijja kumalawo enkaayana ezitali zimu ate mu bwangu. Abo abanyooma Embuga ya Kisekwa baba banyoomye Kabaka waffe era baba banyoomye Obuganda bwonna; olwo nga bakangavvulwa mu mateeka nga bagobwa. Bajjajjafe baaleka batuwabudde nti Akufumbira ey'omutwe omufumbira ya bigere ne mwenkanya evvuumbe!

Re:EBIKA BYA BAGANDA 4 years, 5 months ago #8640

  • Mulongo
  • OFFLINE
  • Kasaayi
  • Posts: 1399
  • Karma: 5
Mmilodo bwooba oyagadde owandiika ebintu ebisengelke obulungi!! Lwaaki wali okanula abantu ebikya? Eno emboozi nja kudda ngiteeseeko. Naye mu mazima bangi bagaala bitiibwa bya bandabe, nebeerabira nti nga tonnafuna bitiibwa osooka kufuna buvunanyizibwa okutuukiriza emirimu. Kisaaliza nnyo ekintu kino mu bantu bbaffe!!
  • Page:
  • 1
Time to create page: 0.36 seconds
YouCMSAndBlog Module Generator Wizard Plugin