Baganda Radio
YouCMSAndBlog Module Generator Wizard Plugin
Welcome, Guest
Username Password: Remember me

TOPIC: Yiga Olulimi Oluganda

Re:Yiga Oluganda 6 years, 2 months ago #814

  • Omumbejja
  • OFFLINE
  • Bbalagavu
  • AWALI MUKAMA TEWALI KIREMA
  • Posts: 1815
  • Karma: 8
Eng’oma ‘Bwenunudde’ evuga ddi mu Buganda?



2.Ekikolwa eky’okuddaabiriza ebita ebyatise kiyitibwa kitya?

Okuganda.

3.Kabaka bw’afunira Obuganda Nnaabagereka, waliwo eng’oma evuga. Eng’oma eno eyitibwa etya?

Bwenunudde.

4.Mpa amannya ga Ssekabaka eyawangula essaza ly’e Ssese?

Tewali, lino essaza lya balubaale.

5.Ssekabaka Kamaanya yayisa ekiragiro ekyatuuma (“ Ekya Kasaagira”. Kyali kigenderera ki?

Kukuuma bufumbo.

6.Endawule egenda n’eggoong’onnyo! Ekitooke okuggyibwa eggong’oonyo eryo kiyitibwa kitya?

Nabyewanga.

7.Ekiryo tekiranda, kikola ki?

Kikuukuuta.

8.Mpa erinnya erigatta ebigambo bino; Mityana, Rwenzori,Namatovu, Kidepo.

Mannya ga nkalakkalira.

9.Kabaka bw’agenda okukuba enkanamu, aweereza bakadde b’omuwala ebintu. Ebintu ebyo biweebwa linnya ki?

Ndaalira.

10.Ekikolwa ky’okuddaabiriza oluggi olwa muluke olukutuseemu enzizi, kiyitibwa kitya?

Okusiita.

11.Mpa amannya ga Kabaka eyawangula essaza ly’e Ggomba.

Ssekabaka Kateregga.

12.Eddaala lye beeyambisa okuyimbula omutuba lissibwako enkata. Enkata eyo eyitibwa etya?

Bwenyi.

13.Empandiika y’olulimi Oluganda entongole gye tugoberera kati yatongozebwa ddi?.

1947.

14.Ebisigo by’ekita Omuganda yabiwa linnya ki?

Bisimbo.

15.Omukwasi w’enseenene bw’awulira enseenene nga zikaaba, agenda okulinga.

Akwata enseenene emu n’agiggyako omutwe n’agisulika. Kino akikola alina ebigambo by’ayogera.Bimpe.

Sirya nseenene ng’enda Bujubi.

16.Malayo olugero luno nga bwe lwogerwa. Ekinene kigenda na kusingirwa...........

Enseenene zigenda na vvu.

17.Ekifo ekyali kibaddemu ebyagi olina ebimera kw’oyinza okukitegeerera. Bye biruwa?

Ssettaaba.

18.“Okukongojja omumbejja” kisoko. Kitegeeza ki?

Kunywa mwenge n’otamiira.

19. Abambowa edda baakozesanga malenge okubaguliza ku bannaabwe. Amalenge gakolwa mu ki?

Kiwuuwa.

20.Omuntu gwe bagamba nti “Yakoma entamu” y’aba atya?

Tawasa kyokka talina nsonga.

21.Embuzi bw’ogisanga nga omugwa gugituze, okola ki?

Ogiggyamu omuguwa n’ogisala obulago n’ogiziika.

22.Kinyonyi ki Abaganda kye boogeza ebigambo bino; “Eeh, buno si bwavu bugagga!

Kataayi.

23.“Omuge ogutikkirwa Ssaalongo omukulu ku mukolo gw’okumala abalongo, gukolwa mu ki?

Byoya bya nkusu.

25.Ani yawandiika akatabo “Omuganda N’enswa”?

Jackson Kaswa.

27.Malayo olugero luno; Ajjanjaba omulwadde si y’amusikira.

Enswa tezibuukira mu mpompogoma.

28.Ssekabaka Muteesa II bwe yawang’angusibwa mu 1953,waliwo omuntu eyagamba nti Kibuuka Omumbaale yali amuzze ku jjoba era n’alagula nti Kabaka yali wa kudda mu nsi ye n’obuwanguzi. Mpa amannya g’omuntu oyo.

Kibuuka Kigaanira.

29.Yasuzeeyo. Ebigambo ebyo bisikize ekisoko ekituufu.

Yaliddeyo ekisula.

30 Engabo eyali ey’omuzira olina engeri gy’oyinza okugitegeererako. Ogitegeerera ku ki?

Ku nkovu.

31.“Okukongojja Ebbemba” kisoko.Kitegeeza ki?

Kukongojja Kabaka.

32.Enseege kivuga ekisaakanyiza mu bivuga ebirala.Enseege ekolwa mu ki?

Buseekende n’amalanga.

33.Omwana gwe bagamba nti “Baamukuba enkinga mu mutwe” y’aba atya?

Atawulira bakulu.

34.Ne kasooli yeetuga, yeetuga atya era kiki ekikolebwa?

Yeemenyamu ng’omususa olwo n’asuulibwa mu luggya.

35 Kinyonyi ki Abaganda kye baggyako ebigambo bino;

“Ssaabasaaliza abaana mwerolere”

.Nng’aali.

36. Ku mukolo gw’okumala abalongo, kubeerako okuzina amazina.Ssaalongo empina z’azinisa ziva ku ki?

Nsansa.

37.Ani yawandiika akatabo Nkyalira Walumbe e Ttanda?

S. Kaddu.

38. Emirimu gye tukola tusaana okugiteekamu obugumiikiriza, anti obuwanguzi oluusi kiba kitwala ebbanga okubatuukako. Mpa olugero olugya mu kunnyonyola okwo.

Asimba kasooli tamulya makoola, amulinda kwengera.

39. Malayo olugero luno; Atabubira nsiko ye taliira..........

Emisu tegirya mwami.

40.Omukazi bw’akwata enseenene n’atuuka awaka nga bba taliiwo akola atya?

Ayita enkoko empanga n’ataako enseenene emu enkoko n’egirya.

41.I K Musaazi ye yatandikawo ekibiina ky’eby’obufuzi ekyasooka mu Uganda. Gwali mwaka ki?

1952

42.Amaka agaali gabaddemu ente, waliwo ebitonde kw’oyinza okugategeererako. Bitonde ki ebyo?

Kalandalugo / Amayirikiti.

43. “ Okukongojja Ndawula’’ kisoko.

Kitegeeza ki?

Kulwala lukusense.

44.Ekkondeere kye kimu ku bivuga ebivugira Kabaka. Kiki kye bakolamu ekkondeere?

Omuboga.

45.Omuntu gwe bagamba nti, “Baamuyoola ettaka” y’aba atya?

Nga talina mukisa.

46.Ettooke lyetuga litya era kiki ekikolebwa ng’olisanze?

Enng’o yeewanula waggulu n’egwa ku ttaka. Esuulibwa ku kkubo oba ku ttale.

Published on: Thursday, 22nd November, 2007
I AIM TO PLEASE.............SOMETIMES

Re:Yiga Oluganda 6 years, 2 months ago #815

  • Omumbejja
  • OFFLINE
  • Bbalagavu
  • AWALI MUKAMA TEWALI KIREMA
  • Posts: 1815
  • Karma: 8
Njawulo ki eri wakati w’ekiggya n’amagombe?


Bya Richard Ssemakula

Bino by’ebibuuzo ebyabuuziddwa ku Lwokusatu;

1.Ggyako eddiba ku nsolo, kuba kukola ki ? Kubaaga.

2.Nywa ku mwenge olabe oba gwayiisiddwa bulungi. ekikolwa ekyo ne tukiyita? Okulega ku mwenge.

3.Awandiika by’ayagala bikolebwe ng’afudde, aba akola ki? Aba alaama.

4. Gano amayinja asatu kwe batuuza entamu nga bafumba, bagayita batya? Masiga.

5.Essinzizo lya bajjajjaffe ne tuliwa linnya ki? Ssabo

6.Saba mu nsaba eri eya bajjajjaffe eyedda ?…..……….

7.Ekika kino kyesiimye anti kye kifumba embuga kati? Musu

8.Erinnya Ssenga ne ligwaayo litya? Ssenga tewali mukazi wandibadde kitange.

9. Abaganda bokka be basibuka mu jjajja ffe Kintu .

10. Ssaabasajja omukolo gw’okuziika akola gumu gwokka mu Buganda abaffe Ronald Muwenda Mutebi ogugwe yagumala dda oba tannaba? Tagumalanga.

11.Ssenga ne muwala we basobola okufumba mu ddya erimu. Nnimbye oba sirimbye? Tolimbye.

13.Tolaba nnaku zino bamaama kugenda mu ntalo zaabwe nga bakakaatanye n’ebintu by’omwana atannaba kuzaalibwa, edda kyali kivve,

empanuuza ku kino yali etya? Nti singa ateekateekera omwana gw’atannaba kulabako oba kuzaala,

kyawanuuzibwanga nti munda mu lubuto muyinza okubeeramu ekikulekule.

14.Singa nnazadde gannemeredde

nnaalimutuumye Nambi wabula engeri gye nnazadde nantukirira mmutumye Mukasa.

Omwana gwe nnazadde aliko mawano ki? Alina endira bbiri kuba wasooka kugenda wa jjajja Mukasa okusaba oluzaalo


15. Mu kutikkira Nsamba, omukolo gw’okufumita ensolo gubeera ku mwanjo nnyo,

ensolo gy’afumita eba ya kika ki era eyitibwa etya? Ebeera nte ey’ekika kya kayinda.


16. Kabengwa kanyomu, kanyomu kabengwa. Kwanaganya ebigambo ebyo tulabe

Kanyomu y’ente ya Kabaka aba Nakinsige gye balunda.

17. Kabaka bw’omuyita ‘Kkalata’ tokoma kusekererwa naye bayinza n’okukuyisaako ow’embuya n’olwekyo kitwale nti erinnya Luliika teririiyo.

Mu luliika ggyamu ettuufu ate ogerenjule? Mu luliika nzigyamu Luli ka kuba luli ka terubulwa kye lukola.

18. Ku lyato bwe njogera ku kitundu ‘ggulumba’ otegera ki?……………

19.Mwannyina wa Kabaka owokubiri asingayo obuto y’ani? Omumbejja Diana Teyeggala

20. Mu bazaana ba Kabaka, muzaana ki amanyiddwa ng’emu ku mpagi eziwanirira obwaKabaka? Omuzaana Nassaza.



21.Ono Ssekabaka yatta nnyo emmandwa n’azimalawo naye ebyavamu tebyali birungi.
Yali Ssekabaka ki oyo era n’ebyavaamu bisomese oyo atabimanya? Ssekabaka Tembo .

22.Weegendereze obulombolombo bwa Buganda. Olowooza lwaki Kabaka oluguudo lwe Nabulagala taluyitamu ng’agenda e Kasubi ku Masiro?

Olwo oluguudo lumutwala amaze okukisa omukono.

23. Bwe nkutuma ettabi ly’omuti eriyitibwa ‘Omwesigama bakyala’ bw’ogenda mu kibira osibira ku muti ki?

Osibira ku muti gwe bayita omusasa.

24. Emiryango egiyingira mu mayumba gyonna giyitibwa miryango

naye ate bwe njogera ku kiryango ekibi otegera ki?

Ekiryango gwe mulyango oguyisibwamu enjole ya Kabaka oba abalala abali mu ttuluba eryo mu masiro.

25. Mpalanyi n’abalala abawuliriza bategeeze amakulu g’ekigambo akanena?…………

26. Okuyomba ettulumuko ng’ayombera ogukaze, guno mu ki gwaba ayogerako? Omukwano.

27.Ofunye ekkobe ate ng’oyombera essinzi? Kozzi essinzi kye ki? Essinzi gy’emirandira gy’ekkobe.

28. Luno lugero lumaleeyo; Kibeere kya nkukunyi? Owanda mu ngalo amalusu n’olyoka okisitula.

29. Kimanje nalwo lugero lumaleeyo? Bwe kita ensuwa nga lujjo.

30. Kola emboozi mu kigambo kino atakimanyi akitegeere ‘Okusoboya’ ? Kitegeeza kunoga, Mukwate ebibbo baana mmwe tugende tusoboye ettimpa.

31.Njawulira wakati w’ekiggya n’emagombe? Ekiggya ky’ekifo ekyenkalakkalira we baziika abafu ate emagombe kifo ekibeerawo kaseera buseera nga baziika.

32. Ekifo kye tugambye waggulu kiyitibwa ekiggya, olowooza kyava ku ki ?

Ekigambo kiggya kyava nti edda bajjajjaffe bwe baafanga nga babaaziika mu luggya olwo olubadde oluggya ne kifuuka ekiggya.

.Tuweeyo ebintu bisatu eby’enkukunala Radio Simba by’esinza ku leediyo endala? Essomesa olulimi oluganda ng’eyita mu Ngule, Etutegekera Ekiggunda ky’omwaka e Nakivubo era ye leediyo eweereza mu lulimi oluganda lwokka abantu lwe tusinga okutegeera .


Published on: Sunday, 25th November, 2007from bukedde
I AIM TO PLEASE.............SOMETIMES

Re:Yiga Oluganda 6 years, 2 months ago #816

  • Omumbejja
  • OFFLINE
  • Bbalagavu
  • AWALI MUKAMA TEWALI KIREMA
  • Posts: 1815
  • Karma: 8
1.Lumonde enkukumu gwe munwe gwa lumonde ogubeera gwekwese mu lwaliiro.
Kalombolombo ki akali ku lumonde oyo?

Aliibwa nnyinimu.

2.Siraje Ntumwa aleese obwana bw’enkoko obutandise okubuukira emiyagi.

Ebigambo obwana bw’enkoko obutandise okubuukira emiyagi bisikize ekigambo kimu?

Obwambulabbombo.

3.Ensonyi ezisusse zifiiriza. Mpa olugero olugya mu mbeera eyo.?

Omukono ogw’ensonyi tegukkusa baana baagwo.

4.Mpa amannya ga Kabaka eyadibya okuggya Bassekabaka obuba.

Walugembe Muteesa 1.

5.Mpaayo ekintu kimu omukadde omukazi ky’atateekwa kuwa musajja awasa muwala we ( nga kyakulya).

Gonja/ kasooli.

6.“Tuva kulima”. Mpa ekisoko ekigya mu kunnyonyola okwo.

Tuva kuliisa ggoonya.

7.Ani yawandiika akatabo; “Tokiiya Ng’onge nto”?

Robert Mukasa.

8.Enjoka eziruma abaana abawere era ne zibakaabya, Omuganda yaziwa linnya ki?

Obwandu.

9.Ekikolwa eky’okutwala ente mu kifo mwe zinywera amazzi, kiyitibwa kitya?

Okweserera.

10.Essubi lye basasira mu nju okutuulako bwe likaddiwa liyitibwa litya?

Kkukuuzi.

11.Olulagala omukyala agenda mu ssanya okuzaala lwe bamusiba luyitibwa lutya?.

Kiyina.

12.Malayo olugero luno; Nnaagunywanga ne nsulayo................

Nga gy’agunywedde gy’akwanye..

13.Mu nsinza y’Abaganda ey’ennono mulimu ebigambo bino; “Lubaale okunywera ku jjoba”. Bitegeeza ki?

Lubaale okwerondera omuntu gw’aba yeerondedde.

14.Mpa erinnya eddala erya nkokonkulu?

Oluguve.

15.Bw’oba ogenda okulya lumonde, oddira omunwe n’okunyuulako akatundu n’okasiigako mu bulago nga bw’oyogera ebigambo bino;

“Nkuseerereza ddala”.Makulu ki agali mu kintu ekyo?

Oba ogema kikeeto.

16.Amata g’embwa bw’ogagattamu olufufugge lw’ekimuli ky’omulamula, n’ogattamu n’omwenge n’owa omuntu gw’oyagala ave ku mwenge, aguvaako.

Ebigambo “amata g’embwa” bisikize ekigambo kimu.

Amabwabwa.

17.Eyali afunye ekizibu buli kaseera aba yeekengera. Mpa olugero olugya mu mbeera eyo.

Eyali alumiddwa ku musota, bw’alaba omunya adduka.

18.Edda omusajja bwe yafanga, ng’asikirwa muganda we oba muzzukulu we.

Yali Kabaka wa Buganda eyadibya empisa eno, olwo abaana ne batandika okusikira bakitaabwe.

Kabaka ki eyatandikawo empisa eyo?

Mukaabya Muteesa 1.

19. Kizira mukaamwana okukwasa ssezaala we ekintu. Mpa ekintu kyokka mukaamwana kyakkirizibwa okukwasa ssezaala we?

Omwana.

20. Baatuukayo ne bamulabako. Mu kikolwa baatuukayo, ennyingo -yo eyitibwa
linnya ki mu ggulaama w’olulimi Oluganda?

Nzirugaze.

21.Abaana baayombye ne batuuka n’okulwana. Mpa ekisoko ekigya mu mbeera eyo? Baalidde matereke.

22.Ani yawandiika akatabo; Emmwaanyi gye Weesiga”!

Grace Nagaddya.

23.Enjoka eziruma abawala abatandika okuvubuka, Omuganda yaziwa linnya ki?

Za ddumi.

24.Ekifo ente kye zigumbamu nga zimaze okunywa amazzi kiyitibwa kitya?

Ssaazi.

25. Essubi erisalibwa olw’okubikka olusuku, Omuganda aliyita atya?

Ssisiro/ ggugu.

26.Endagala ze baaliirira mu nvubo y’ekiswa olw’okuttiramu enswa, Omuganda aziyita atya?

Bitutubiko.

27.Malayo olugero luno; Naku za mbwa......................

N’ataajoola aboggoza.

28. Mu nsinza y’Abaganda ey’ennono, mulimu ebigambo bino; “Lubaale ow’ekikandulo”

Y’oyo Lubaale ayogererawo nga eng’oma tezinnabukala bulungi.

29. Enkoko enkazi etannaba kuzaalako, Omuganda yagiwa linnya ki?

Nseera.

30. Omukazi abyala lumonde akola ki lumonde asobole okutuula (okubala)?

Bw’amala okubyala atuulako mu bibibi (bikata).

31.Embwa erina eggwako. Ssentensi eyo gitereeze mu lulimi Oluganda olutuufu.

Embwa eri bubulugu oba ebwagabwaga.

32.Bw’oba ne gy’olaga, tosaana kweraliikirira anti eyo gy’olaga osobola

okufunayo emikwano.Mpa olugero olugya mu mbeera eyo.

Omusajja gy’agenda, gy’asanga basajja banne.

33.Kabaka y’assaawo empisa y’ensi era y’agidibya. Mpa Kabaka eyassaawo empisa

y’okutta omusajja eyabanga akabawazza omwana omuto?

Ssekabaka Ssuuna II.

34. Omulimu omukadde omukazi gw’atateekwa kukola nga waliwo omulenzi awasa muwala we gwe guli wa?

.Okuluka ekibbo/ okutunga engoye n’empiso..

35. Ani yawandiika akatabo; “Balya N’Enseekeezi”?

Abayiiya Abajja.


36.Enjoka ezitera okuluma bannakawere ziyitibwa zitya?

Za kawammansi.

37. Ekisinde ente mwe ziyita okugenda okunywa amazzi kiyitibwa kitya?.

Kikuute.

38. Essubi eriserekebwa ku nju bwe likaddiwa olwo liba liyitibwa litya?

Nkaajumbe.

39.Olulagala bassenga lwe beesiba nga bafiiriddwa mwannyinaabwe luwe erinnya?

Mayina.

40.Malayo olugero luno; Nakawere akankana...........

Ng’alabye amuweereza.

41. Mu nsiza y’Abaganda ey’ennono mulimu ebigambo bino; “Bamusudde ejjoba”. Bitegeeza ki?

Omukongozzi/ mmandwa bamumweddeko enviiri.

42. Mu maka g’omuganda nga temubulamu nkoko ya lujumba. Eba n’obugere bumeka?

Buna ku buli kigere..

43.Kabi, Sande ne Kalema baatuukayo kikeerezi. Mu kikolwa “Baatuukayo”, ennukuta “a” ekulembeddwa ennyingo “-ba”eweebwa linnya ki mu ggulaama w’Oluganda ?

Kabonero ka kiseera ekyayita
I AIM TO PLEASE.............SOMETIMES

Re:Yiga Oluganda 6 years, 2 months ago #847

  • Kulabako
  • OFFLINE
  • Kasaayi
  • Posts: 1061
  • Karma: 5
Obuwakatirwa n’okuwangaala

Bya Polof. Livingstone Walusimbi

WALIWO ebikolwa ebimu sembyayo ennukuta ‘a’. Ebikolwa bino ebisinga bya nnyingo emu. Ebigambo bino bwe bigattibwako akawakatirwa ng’ate akawakatirwa ako katandika na mpeerezi, tufuna empeerezi eza nnabansasaana.

Ekyokulabirako:
Beera kiva mu ba - era nga mbeera wano.
Seera kiva mu sa - era nga nseera ku lubengo.
Weera kiva mu wa - era nga mmuweera ku kikopo.
Liira kiva mu li - era nga liira wano.
Fiira kiva mu fu - ira nga mu yafiira eyo.
Tiisa kiva mu ki - isa nga tontiisa.
Teera kiva mu ta - era nga teera Kato.
Ggweesa kiva mu ggwa - esa nga okuggweesa.
(weetegereze obugambo bwonna obusooka n’empeerezi bwe buwakatirwa bwe njogeddeko.)
Weetegereze:
Ekigambo tiisa kiva mu kikolwa tya. Ekikolo ky’ekigambo ekyo ye ti. Noolwekyo bw’ogattako akawakatirwa - isa ofunamu ekigambo ekyo tiisa (okutiisa) era bw’ogattako akawakatirwa akalala nga ibwa ofunamu tiibwa.

Ebyokulabirako: Okutiibwa, ekitiibwa, omutiibwa oba oweekitiibwa.
N’ekigambo liira kiva mu kikolwa lya. Ekikolo ky’ekigambo ekyo ye li. Ekikolwa ekyo bw’okigattako akawakatirwa -ira ofunamu ekigambo liira - okuliira ate bw’ogattako ibwa - okuliibwa.
from bukedde

Published on: Saturday, 27th September, 2008

Re:Yiga Oluganda 6 years, 2 months ago #848

  • Kulabako
  • OFFLINE
  • Kasaayi
  • Posts: 1061
  • Karma: 5
Okuwandiika kwe kukuuma olulimi

Bya Anthony Ssempereza

DR. Michael Bazzebulala Nsimbi, MBE, ye Muganda asaanidde okwenyumirizaamu olw’emirimu gye yakola. Yawandiika ebitabo by’oluganda bingi ate mu buzibu.

Olw’okuba ye muwandiisi eyasooka, talina gwe yakoppa ebibye ye yabitandika, kyokka n’abiwandiika bulungi buli abisoma abitenda okunyuma.

Yayagala Oluganda era yalulwanirira ng’ayita mu bitabo. Yali tayagala bantu batawa kitiibwa lulimi lwabwe naddala abatabiikiriza ennimi. Okutabiikiriza ennimi kye kivaako eggwanga okufiirwa olulimi lwalyo. Yatusomesa nnyo ebikwata ku Buganda ng’ayita mu butabo bwe. Bye yawandiika yabiraba, byaliwo era biribeerawo kubanga bya mazima. Mu kitabo kye, ‘Ennono za Buganda’ aggyayo ebikwata ku bika bya Baganda omuli abakulu b’ebika gye batuuula, emiziro, akabbiro n’emirimu gy’abakulu b’obusolya. Yaleka asibiridde abawandiisi abajja entanda y’okunoonyerezanga n’okuggyayo amazima.

Ayita mu butabo bwe n’asomesa Abaganda ebyobuwangwa okugeza mu ‘Bwali Butamanya’ akuba ekifaananyi ky’ekyalo Kyamutuula ekijjuddeko ebyobuwangwa ebifananira ddala n’ebyobuwangwa ebiri kumpi mu byalo byonna ebisangibwa mu Buganda. Ategeeza Abaganda ku byafaayo by’ensi Buganda nga bwe yali efaanana okuva edda nti, mwalingamu emisambwa, ebibira eby’emizizo nga tebitemwamu miti.

Yayagala Abaganda baagale olulimi lwabwe ate balukuume. Okukuuma olulimi oteekwa okulwogera n’ okuluwandiika. Ye teyakoma ku kwogera ng’abamu bwe bakola naye yalulwanirira ng’aluwandiikamu ebitabo.

Okutaputa ekibuuzo 2: Laga emirimu gya Nsimbi gy’akoze ng’ayita mu kuwandiika ebitabo.
Ekibuuzo 3: Singa Nsimbi azuukira kati, waliwo ebyandimukaabizza amaziga. Biki ebyandimukaabizza?
from bukedde

Published on: Saturday, 27th September, 2008

Re:Yiga Olulimi Oluganda 6 years, 2 months ago #1072

  • Omumbejja
  • OFFLINE
  • Bbalagavu
  • AWALI MUKAMA TEWALI KIREMA
  • Posts: 1815
  • Karma: 8
1. Mu bambowa ba Kabaka, mulimu ayitibwa Kawuuzuumo. Omumbowa ono wa kika ki?

Nnyange.

2. Ekisoko kino kitegeeza ki? “Endeku okuyiguliza”.
Butaba na mmizi.


3.Bonsatule bano baaliko Bakatikkiro ba Buganda; Samuel Wamala, Honorato Nnyonyintono, Muguluma. Gyamu omu atagenderamu owe n’ensonga lwaki omuggyeemu.
Samuel Wamala; Abalala baali bawang’ami.


4. Malayo olugero luno; Okirimbye basuze..... Nti abalungi baagenda n’omwami.


5. Gwe nnatutte baamuliisizza omuyoola. Omuyoola gwe mu ki?
Olumanyo.

6. Ensuwa ekimirwamu amazzi eweebwa linnya ki? Nkulembe.

7. Mpa amannya g’omuntu eyavaako ekibuga ky’e Ntebe okufuna erinnya eryo?
Omutaka Mugula.

8. Mpa erinnya ly’omutaka akulira ekika ky’abeddira omutima omusaggi.
Nakirembeka ( Butale Buddu).

9. Eno kwe bagirabira nti ekuze kuba kubuuka. Enki eno?
Entakke (Enswa ento).

10. Emmandwa yonna bw’ekoma ku kyuma ekyengeredde, ekikolwa ekyo kiweebwa linnya ki?
Kunywa kasera.

11. Nnatuuse kiro era enva nnalidde za nkolwa. Olwo nnalidde ki?
Amazzi omuli omunnyo.

12. Mpaayo erinnya eddala eritegeeza oluggya olw’omu maaso g’enju ? Eddembo.

13. Mpa amannya g’omuntu eyavaako omuggavu w’amatu okumuyita ow’e Ddambwe?
Kabaka Kiggala e Ddambwe.

14. Banfumbidde emimbati n’ebinyeebwa bya nsanyuse. Emimbati gye miki?
Muwogo omulamba ng’afumbiddwa.

15. Mu ssabo mubeeramu ekifo ekitegekebwa olw’omukongozzi okutuulangako. Kiyitibwa kitya?
Entindi.

16. Omukulu w’abaweesi ba Kabaka ye Walukagga. Obutaka bwe buli ku kyalo ki?
Kibugga e Butambala

17. Kizira omulenzi okukomba entamu. Bw’okikola kiba ki?
Towasa.

18. Olusozi luno lwogerwako ng’okuli ekiggwa kya Katonda....
Muggulu.

19. Malayo olugero luno; Nantaggwa malambula ........
Ng’omukwano gw’olusuku.

20. Kimenya mpisa ya nsi , Kabaka wa Buganda okusamira. Kabaka ki eyasembayo okusamira?
Sekabaka Tebandeke.

21. Ekituli ekyetooloovu ekibeera ku nkumbi mwe bawanga omuyini kiyitibwa kitya?
Ng’ango.

22. Omutuba gwange gwonna Suulensaamu agulidde.Suulensaamu y’ani?
Obusaanyi obulya obukoola bw’omutuba.

23. Maliriza enjogera eno; Amutaddeko amaanyi......
Ttimba ku mbwa.

24. Ab’engeye balina omubumbi wa Kabaka. Ayitibwa atya?
Sseddagala.

25. Mpaayo erinnya egganda eriyitibwa olubalaza .
Ekifugi

26. Mpa erinnya ly’omunnyo ogumanyiddwa ng’omunnyo omuluku.
Ogw’endago.

27. Essomero lya Namilyango College lyatandika mu mwaka ki?
1902.

28. Ekiggwa kya Lubaale Ddungu kisangibwa mu ssaza ly’e Kyaggwe. Mpa erinnya ly’ekitundu ekiggwa kino mwe kisangibwa?
Mabira.

29. Nakawere akumirwa ekyoto ky’akasaana n’akyota. Ekyoto kya Nnakawere Omuganda yakiwa linnya ki?
Kaali.

30. Ssekabaka Kalema yatta abaaana b’eng’oma bangi anti yalowooza nti baali bajja kumutwalako Obwakabaka bwe. Mpa erinnya ly’ekifo mwe yattira Abalangira bano.
Katereke ( Busiro).

31. Omuti; Mu linnya eryo ennyingo -mu- gituume erinnya.....
Nnyingo ya Lubu.

32.Kabaka ayogerwako nti yawasa omuzaana Nalunga muwala wa Ssemaluulu e Nabutitti era n’amwagala nnyo .Kabaka ki oyo?
Jjuuko.

33.Emabbali n’emabbali w’akantu akakulumbavu , akabeera wakati ku nkumbi wayitibwa watya?
Matama.

34. Omwana gwe watumye ewa Ssaalongo yasanze “ Eggendabusa” oba Ekigendabusa”. Olwo aba yasanze ki?
Omusota .

35. Ab’engo balina omubumbi wa Kabaka .Ayitibwa atya?
Kaawonawo Bbanda.

36. Maliriza olugero luno; Omulangira Nvubu......
Terindwa buziba.

37. Mpaayo erinnya egganda eriyitibwa akayumba akakyamirwamu?
Kabini.

39. Omunnyo Omuganda baguggya wa?
Mu lusa

40. Ekiggwa kya Lubaale Ndawula kisangibwa mu ssaza ly’e Buweekula. Mpa erinnya ly’ekyalo ekiggwa kino kwe kwe kisangibwa?
Mubende.

41. Ekyoto ekikumibwa mu luggya lw’omwami kiweebwa linnya ki?
Kizaana .

42. Ani yawandiika akatabo; Amaggwa n’Emitego mu Buvubuka?
Ruth Kaboggoza.

43. Ekiswa ekiri e Naggalabi mu Busiro Kabaka kw’alinnya ng’atikkirwa enguugu kiyitibwa kitya?
Nakibuuka.

44. Akantu akakulumbavu akabeera wakati ku nkumbi era bw’eggweerera kasigala kasongodde. Kawe erinnya.
Olulimi.

45. Omusajja bwe yalabye sekkesa yamuyise linnya ddala. Yamuyise linnya ki?
Ekkomante.

46. Maliriza enjogera eno; Benkanyenkanye.........
Ng’ow’ebbango ayimbula ennyana.


47. Mu buwangwa bw’Abaganda, ku kyalo Nakigalala mu Busiro wakolerwayo ki?
Bubumbi/ Bujoona.


48. Mpaayo erinnya egganda eriyitibwa emyango?
Emifuubeeto.


49. Bw’okwata omunnyo n’engalo bbiri osse mu nva ekyo kiyitibwa kitya?
Ensero y’omunnyo.


50. Ani yawandiika akatabo ; Omuganda Ne Kabaka
Mawanda K.


51. Omugga Kato gwazaalibwa omumbejja Nazibanja. Mpa erinnya ly’ekifo omugga guno we guzaalibwa?
Seguku.


Ekkanisa y’e Namirembe ddi? 1904.
52. Ani yawandiika akatabo; Olulimi Oluganda Amakula.
Bonny Lubega.

Published on: Tuesday, 14th October, 2008

by SEMEI WESSAALI bukedde
I AIM TO PLEASE.............SOMETIMES
Last Edit: 6 years, 2 months ago by Omumbejja.
Time to create page: 0.46 seconds
YouCMSAndBlog Module Generator Wizard Plugin