Baganda Radio
YouCMSAndBlog Module Generator Wizard Plugin
Welcome, Guest
Username Password: Remember me

SENGA WA BUKEDDE KUMUSANGO GWOKULWAZA ABAANA SLIM
(1 viewing) (1) Guest

TOPIC: SENGA WA BUKEDDE KUMUSANGO GWOKULWAZA ABAANA SLIM

Re:SENGA WA BUKEDDE KUMUSANGO GWOKULWAZA ABAANA SLIM 5 years, 4 months ago #5157

  • Mulongo
  • OFFLINE
  • Kasaayi
  • Posts: 1399
  • Karma: 5
Oluyimba lw’eggwanga lusseemu ebisoko
Monday, 11 May 2009
MULIYO mutya baana bange? Mwebale kweraga mukwano. Njagala kwogera ku nsonga etambuza emirimu gy’omu kitanda. Ensonga eno y’eyoluyimba lw’eggwanga. Mmanyi bawalaba bange bangi musuuliridde oluyimba luno nga mulowooza hti terukyalina makulu. Ate n’abagezaako okulutwala mu maaso mukikola kutuusa mukolo.
Ekivuddemu be batabani bange okubategeeza nga ‘sisiri’ bwe baamukoowa. Ggwe ssebo oyinza otya okuyimba oluyimba lwe lumu n’omalako omwaka n’okwata omulala?

Ekituufu kiri nti oluyimba luno luteekeddwa okukyuka okusinziira ku ngeri naawe gy’onyumirwamu kye muba mukola.
Okugeza munno mugambeko nti ‘ATM card’ gy’alina yagiggya mu Girimaani era gye baamusomeseza okugikozesa,era n’esiigibwako ggaamu agisobozesa okusikayo obuswandi.

Kyusakyusaako mu lulimi oluyimbeko mu Lutooro, Olusoga oba Olunyarwanda. Kino tekikwetaagisa kusooka kuyiga lulimi lwonna, wabula osobola okuyigamu ebigambo by’omukwano.

Bw’aba akutuuse awakuwoomedde, tomulyazaamaanya mutegeeze akimanye.
Amannya nago makulu, tomuyita Ssekatawa, waakiri musaleko omuyite.. Sseeka, ddiya, ddadi n’ebirala.

Re:SENGA WA BUKEDDE KUMUSANGO GWOKULWAZA ABAANA SLIM 5 years, 4 months ago #5166

  • Efulansi
  • OFFLINE
  • Platinum Boarder
  • Today is a gift, also called present
  • Posts: 388
  • Karma: 4
Muwemule sni nga bwemwagala museveni asasula, mujoge mutte abana ba banamwe nebigambo byamwe nga mulisa abaana nabazade abamwe. buli mbwa nolunaku lwaayo.
Hearts are often broken, when words are not spoken

Re:SENGA WA BUKEDDE KUMUSANGO GWOKULWAZA ABAANA SLIM 5 years, 4 months ago #5195

  • Musajjalumbwa
  • OFFLINE
  • Kasaayi
  • EKITIIBWA KYA BUGANDA KYAAVA DDA
  • Posts: 1036
  • Karma: 9
Oba kyebava tebalina slim mungi nga mmwe gwemusize mu baana?
Tebanyumya ku bya kwegatta
Wednesday, 13 May 2009
BULI nsi tebulamu byewuunyisa. Mu Girimaani abantu okuwulira omuntu ayogera ku kaboozi bamwewuunya kubanga tebaagala kukiwulira.

Bino byazuuliddwa mu kunoonyereza okwakoleddwa ab’ettendekero lya Allensbach ne bakizuula nti abantu 64 ku 100 tebaagalira ddala kwogera ku kwegatta. Emboozi za bannansi zisinga kwetooloolera ku kugeya oba kwogera ku miwendo gy’ebintu bya bulijjo. Waakiri boogera ku kufa oba okulwala naye nga tebanyumizza ku kwegatta.
Attachments:
  • Attachment (0KB)
  • Attachment (0KB)
EMPOLOGOMA EKUTUDDE OMUTEGO GW\'OMUYIZZI

Re:SENGA WA BUKEDDE KUMUSANGO GWOKULWAZA ABAANA SLIM 5 years, 4 months ago #5205

  • Kalibattanya
  • OFFLINE
  • Bbululu Safaya
  • Bringing Good News
  • Posts: 798
  • Karma: 5
Waliwo abantu abategeevu abanyumya emboozi bwezityo mu bantu? Abaganda benyini tebakikola, mu families ezimu, nga ewaffe, wadde aboluganda. Kirina kuba kya nsonga nyo, ate mukyogera nekiggwa. Ezo mboozi za ba mikwano abali mu myaka egimu, ate nga bakulu. Ssi ba tiini.
Love Conquers All

Re:SENGA WA BUKEDDE KUMUSANGO GWOKULWAZA ABAANA SLIM 5 years, 4 months ago #5323

  • Musajjalumbwa
  • OFFLINE
  • Kasaayi
  • EKITIIBWA KYA BUGANDA KYAAVA DDA
  • Posts: 1036
  • Karma: 9
Siriimu yeyongedde
Written by Robert Mutebi
Bukedde Wednesday, 20 May 2009
AKULIRA eddwaaliro eribudaabuda abalina akawuka ka siriimu e Nsambya, Dr. Maria Nannyonga agambye nti keeyongedde okusajjalaatira mu baana abazaalibwa nako wamu n’abavubuka.

Bino Dr. Nannyonga nga y’akulira Nsambya Home Care Unit (NHCU), yabyogeredde ku mukolo omubaka mu Palamenti, Husssein Kyanjo kwe yaweereddeyo obugaali bu maanyi ga kifuba butaano okuyamba abaddukanya eddwaaliro lino mu by’entambula wiiki ewedde.
EMPOLOGOMA EKUTUDDE OMUTEGO GW\'OMUYIZZI

Re:SENGA WA BUKEDDE KUMUSANGO GWOKULWAZA ABAANA SLIM 5 years, 4 months ago #5329

  • Kulabako
  • OFFLINE
  • Kasaayi
  • Posts: 1061
  • Karma: 5
Kino kyebayita okwewuguusa kwenyini nga abeyita basenga bagabula abaana obukaba ekyemisana nekyeggulo ate nebekangabiriza nti abaana balwaala .
Bino byebintu ebimulopera ddala nti omukazi oyo siMuganda gwaate mubantu abategeevu wa gyolaba nga bawemula empemula eyo okuva nga 1 jan okutuusa dec nga weddeko , lwaaki tebasooka nebebuuza amawulire ga Baganda gonna gebajjawo oba galimu obuseegu butyo olwo olulimi oluwemula Abaganda baali bamanyi nt weruli kyebaava baluwa omukolo, oli awulira nti akamwa ke kamuzimbye obuwemu gya genda neyemala eggoga .

So si kwerowooza nti ye yabimanyi ennyo era yateekwa okubisomesa abaana babanne olwempaka oyo omukazi wewuunye nti mu mawulire amalala tabiwandikayo bo abalala tebalina baana bandyagadde kugwenyuka okujja mu Buganda okutuletera sitaani , wano mpulira bagoba bantu ku byaalombu olwobuwemu ye munaffe ono wa gyasula oba museveni yamufunira awo kusula namusaako nabasirikale ndowooza tujje tubuzeeko ku Ameria Kyambadde abuuze kubbawe M7 story ki eri wakati womukazi ono ne M7gwasasula okuwandiika mu mawulire ge aga bukedde
Attachments:
  • Attachment (0KB)
  • Attachment (0KB)
Last Edit: 5 years, 4 months ago by Kulabako.
Time to create page: 0.27 seconds
YouCMSAndBlog Module Generator Wizard Plugin