Omupiira gwe bika (1 viewing) (1) Guest
 | | |
|
TOPIC: Omupiira gwe bika
|
Namukaabya
EKISA KITTA NE NGE ETTA
Bbalaafu Safaya
Posts: 581
|
|
Re:Omupiira gwe bika 1 Month, 2 Weeks ago
|
Karma: 6
|
|
Lugave v Ŋŋonge
Egyebika gitandika nkya e Nakivubo
Buli kika kiwera kusitukira mu ngabo
FARIDAH BONGOLE
Empaka z’emipiira gy’ebika by’Abaganda 2010 zengedde era za kuggyibwako akawuuwo olunaku lw’enkya (24/7/2010) mu kisaawe e Nakivubo.
Omupiira oguggulawo guli wakati w’olugave n’eŋŋonge era gusuubirwa okubaako n’obugombe anti ne Nannyinimu, Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II wa kugwota buliro.
Omukolo okutambula obukwakku, ebyokwerinda binywezeddwa okwetooloola ekisaawe kyonna.
Minisita omubeezi ow’ebyemizanyo mu Buganda, Owek. Herbert Ssemakula akubirizza abantu bonna okujja mu bungi ku mupiira oguggulawo.
Yakkaatirizza nti ebyokwerinda biri ggulugulu era tewajja kuba mutawana gwonna.
Ebika byonna ebigenda okwetaba mu mpaka biwera kutwala engabo.
Omutendesi w’eŋŋonge, Twaibu Ssemwanga yategeezezza Eddoboozi ly’emizannyo mu kutendekebwa e Nsambya nti okusinziira ku kutendekebwa kwe bakoze, abasambi bali mu mbeera nnungi era asuubira buwanguzi bwereere.
“Tewali kigenda kutulobera kuwangula mupiira gwa nkya. Abaana bonna bali mu mbeera nnungi, tewali mulwadde ate batendekebwa bulungi,” omutendesi Ssemwanga bwe yategeezezza.
Yasabye bonna abeddira eŋŋonge okubawagira mu nsawo ne mu kisaawe.
Ye omutendesi w’olugave, James Magala, ng’ono yaliko omukwasi wa ggoolo ya Uganda Cranes ne Express FC, Eddoboozi ly’emizannyo lyamusanze Lugogo ng’ali mu kuwawula ttiimu ye.
Magala yeerayiridde nti wa kuwuttula eŋŋonge mu maaso ga Ssaabasajja.
Ate ssentebe wa ttiimu y’ekika ky’engeye, Hajji Minge Kibirige eyasangiddwa mu kutendekebwa e Nakasero yagambye nti bagumu nnyo era bagenda kuwangula engabo y’omwaka guno.
Hajji Kibirige yannyonnyodde nti ekimuwa essuubi kwe kuba nti abazannyi baabwe bonna bali mu mbeera nnungi ate nga balabirirwa bulungi.
Ab’enkima wansi w’omutendesi Ibrahim Kirya, batendekebwa ku kisaawe kya Bat Valley mu Kampala. Kirya naye yategeezezza nti amaaso agatadde ku ngabo.
Bizziddwa buggya nga Kasambula 23, 2010
|
|
|
|
AKUFUMBIRA EYO MUTWE NAAWE OMUFUMBIRA YA BIGERE MWENNA NEMWENKANYA EVVUMBE
|
Namukaabya
EKISA KITTA NE NGE ETTA
Bbalaafu Safaya
Posts: 581
|
|
Re:Omupiira gwe bika 1 Month, 1 Week ago
|
Karma: 6
|
|
ENGOONGE EWANGUDDE OLUGAVE
TUYOZAYOZA ABE NGONGE OKUWANGULA NAYE TWEBAZA EBIKA BYOMBI OKUZANNYA NOBUZIRA
FARIDAH BONGOLE
Ekika ky’eŋŋonge kyawangudde omupiira oguggulawo empaka z'ebika by’Abaganda ez'omwaka guno ez'omulundi ogwa 36 ezeetabiddwako namungi w'omuntu okuva mu kisaawe e Nakivubo.
Ssaabassajja ye yagguddewo empaka zino nga yawerekeddwako Katikkiro wa Buganda Eng. J.B Walusimbi wamu ne baminista okuva mu bwakabaka bwa Buganda, Ssaabalangira n’omukubiriza w’abataka, Allan Nakirembeka.
Eŋŋonge okutuuka ku buwanguzi yawuttudde olugave ggoolo 5-4 ez'okusimulagana ppeneti oluvannyuma lw’eddakiika 90 okuggwa nga buli ludda lulina ggoolo emu.
Minista omubeezi ow'ebyemizanyo, Owek. Herbert Ssemakula yeebazizza nnyo ebika byombi olwokwolesa omuzannyo omulungi n’abategeeza nti wateekwa okubeerawo awangula n’awangulwa n’abasaba ekika ekibeera kiwanguddwa obutakola njawukana wabula bagende mu maaso n'okuwagira empaka zino.
Owek. Herbert Ssemakula era yasabye abataka okukunga bazzukulu baabwe okuwagira emipiira gino ku bisaawe yonna gye gigenda okuzannyirwa era ne yeebaza nnyo abazze mu bungi mu kisaawe e Nakivubo.
'Muwagire ebika byammwe, eyo ku bisaawe gye bigenze kijja kubayamba n'okufuna ku nsimbi wamu n'abantu okuzijjumbira', bw’atyo Owek. Ssemakula bwe yategeezezza.
Omukommonsi wa ffirimbi, Muhmed Segonga ye yabadde mu mitambo gy’omupiira guno.
Empaka za kweyongera okutojjera mu bitundu ebyenjawulo, ng’enkima ezannya n’akasimba mu kisaawe e Nakivubo,
enkejje ezannya n’emmamba Gabunga e Buikwe,
Nkerebwe ezannya n’ababiito e Buwama,
ekika ky’akayozi kya kuzannya n’envuma mu kisaawe e Bukalasa nga 27/July/2010.
Empaka zino zisasuliddwa kampuni ya KOBIL, Swico, St. Mary's Kitende, Suntrust company ne Lisa medical centre.
|
|
|
|
AKUFUMBIRA EYO MUTWE NAAWE OMUFUMBIRA YA BIGERE MWENNA NEMWENKANYA EVVUMBE
|
Namukaabya
EKISA KITTA NE NGE ETTA
Bbalaafu Safaya
Posts: 581
|
|
Re:Omupiira gwe bika 1 Month, 1 Week ago
|
Karma: 6
|
|
Bazzukulu ba Ndugwa ab’olugave be bakyasinze okuwangula engabo y’omupiira gw’ebigere mu mipiira gy’ebika by’abaganda emirundi emingi?
Engabo eno bagiwangudde emirundi musanvu (1988, 1990, 1995, 1998, 1999, 2001 ne 2004).
Baddirirwa bazzukulu ba Gabunga eb’emmamba nga bano balina engabo mukaaga
(1952, 1956, 1959, 1989, 1994 ne 2003).
Banange ebika ebirala naffe twelwaneko naye wateekwa okubaawo ebirala nafe mwetubakuba banaffe bano
abebika abalala mwenoonye mulabe
|
|
|
|
AKUFUMBIRA EYO MUTWE NAAWE OMUFUMBIRA YA BIGERE MWENNA NEMWENKANYA EVVUMBE
|
Omumbejja
AWALI MUKAMA TEWALI KIREMA
Bbalagavu
Posts: 1692
|
|
Re:Omupiira gwe bika 4 Weeks, 1 Day ago
|
Karma: 8
|
|
Ekkobe liggyeeko Effumbe
THURSDAY, 05 AUGUST 2010 16:05
BAZZUKULU ba Namwama (Abekkobe) baasuuzizza aba Walusimbi (Abeffumbe) engabo y’emipiira gy’ebika by’Abaganda bwe baabawandulidde ku ‘quarter’.
Baalemaganye 0-0 eggulo e Bukalasa mu Luweero kyokka Ekkobe ne liyitiramu ku ggoolo 2-1 ze lyawangulirako mu gwasooka e Buwama.
E Wankulukuku, Omutima gwawuttudde Obutiko ggoolo 4-1
sso nga ne mu gwasooka e Buyikwe,Omutima gwakuba 2-0. Gusisinkanye Kkobe.
E Buwama, Enkima yaggyeeko Engo bwe baalemaganye 0-0 kyokka ng’ogwasooka Enkima yawuttula 3-1.
E Buyikwe, Envubu yakubye Enseenene 1-0
nga bano badding’ana nkya mu kisaawe e Wankulukuku.
Kkobe 0-0 Ffumbe
Nkima 0-0 Ngo
Butiko 1-4 Mutima
Nvubu 1-0 Nseenene
Enkya e Wankukuluku
Nseenene - Nvubu
|
|
|
|
I AIM TO PLEASE.............SOMETIMES
|
|
|
|
Re:Omupiira gwe bika 3 Weeks, 4 Days ago
|
Karma: 5
|
|
Olugave lwemulugunya, Ennyange n’Enkusu bali Nakivubo
BYA KALANZI IVAN
Ekika ky’Olugave kyemulugunya olw’ekika ky’Enngonge okuzannyisa omusambi atali Muganda mu mupiira ogwaggulawo empaka z’omwaka guno ez’ebika by’Abaganda, ekintu ekimenya amateeka agafuga empaka zino. Mu mupiira guno, Enngonge yawangula Olugave mu kusimula peneti.
Ab’Olugave bagamba nti omukwasi wa ggoolo y’Enngonge, Richard Sonko, wa ggwanga lya Bagisu, era nga bo balina obujulizi obumala okukakasa ensonga eno.
Wabula abakulu bano bategeezezza ng’ensonga eno bwe bajja okugikwata n’obwegendereza nga batya okusasula engassi, singa obujulizi tebumala kukakasa kakiiko kategesi, nti mu butuufu Sonko Mugisu awedde emirimu.
Kyo ekika ky’Enngonge kyalaze eryanyi oluvannyuma lw’okuba nti nakyo kyabadde kisobola okubaawo n’ekyekwaso nti n’omukwasi wa goolo, Sulait Luyima, yali yawerwa mu mpaka zino omwaka oguwedde nga kigambibwa nti Muwologoma.
Oluvannyuma lw’eddakiika 90 nga buli ttiimu ebala ggoolo 1-1. naye olw’okuba ng’omupiira guno gwabadde gulina okusalawo omuwanguzi, baagenze mu kusimulagana peneti, era
ab’Enngonge tebaafunye buzibu kuteeba peneti zonna, kyokka bo ab’Olugave baalemeddwa okuteeba ggoolo emu, nga kaputeeni wa ttiimu, Muhamed Byansi ye yalemeddwa okuteeba.
Gino gikyagenda mu maaso era nga olwaleero zinadda okunywa ng’ekika ky’Ennyange kittunka n’ab’Enkusu mu kisaawe e Nakivubo,
olwo bo aba Nakisingge ba kuttunka
n’Engabi Ennyunga nga gwo guno gwa kubeera mu kisaawe ky’e Buyikwe mu ssaza ly’e Kyagwe.
|
|
|
|
|
|
 | | |
|
|