Baganda Radio
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?

Ebyo buwangwa
(1 viewing) (1) Guest
Go to bottomPage: 123456
TOPIC: Ebyo buwangwa
#8831
Namukaabya
EKISA KITTA NE NGE ETTA
Bbalaafu Safaya
Posts: 581
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Ebyobuwangwa Byaffe(ABAGANDA ABEDDA) 4 Months ago Karma: 6
Muky Winnie byagamba
May 1st, 2010 at 11:08 am

ABAGANDA MUZUKUKKE
Abaganda muve mu tulo obuganda bu gwo nga ate ekyi bumalawo kyilimu ffe abaganda. Ekintu eki kwata ku Namulondo ne Nnono kye ki tu tawanya, era bwetuta tereze Namulondo no okugobelera e nnono ya ffe Obuganda bujja kugwawo.

Tulina okulaba nga e Nnono bajjaja ffe gyebatulekera nga tu giteleeza. Abalabe ba Buganda kino bakimanyi bulungi, era tebasobola kukkiriiza kulaba nga ki tereela.

Abalabe bali mu ffe , era bali mu lunyiriri lwa balangira, bali ne mu Bika bya ffe.

Obubonero bungi obutulagidwa bajjajja ffe, naye ffe tulemedwa oku busengejja no okulaba nti tutelezza ebisobyo ebyo. Mpozzi muyinza okwebuuza, bubonero ki bwe ngyogerako. Obummu bwe bunno wamanga.


• Mu 1997 engoma esinga yo obukulu mu Buganda gye bayita Mujaguzo ya va mu lubiri lwayo e kabowa nga evugga yo ka, ne tuuka mu lujja lwo lubiri ne ye tugga. Abakulu aba manyi ebye Nnono, bagamba nti ako ka babonero ka bi eri Buganda.Era nti Namulondo eriko omutawana.

• Omuti okuli Namulondo ba Kabaka bonna kwe batuula nga batikirirwa obwa Kabaka e Naggalabi gwaaaggwa mu 2001 ne gukala era tegukyali wo nakati.

Amakulu nti Namulondo e ye Nnono e ntuffu tekyaliwo.


• Akabonero ako kusattu . Embiri zonna eza ba Ssekabaka nyononeffu ekitegeza nti Buganda eggwawo.

• Akabonero akalala ge Masirro ge Kasubi oku ggya mu ngeri etaategerekeka.

Era abanyi ebye Nnono ba gamba nti kyi no ki langa okugwawo kwa Buganda nga eggwanga.
Bunno bwe bu mu ku bubonero ba Jjajja ffe mwe bayise okututegeza nti, kyetuliko si ki tuffu era kirinna okuteleze bwa olwo’ Obuganda bubere mirembe.

Bwe tu talikitereza nga ebya Buganda tubivako. Naye tuleme kunenya bantu balala nga ate ekintu eki tawanya Buganda bakitulagga dda era babadde bakyaki tulaga.

Bbino si bya kusaaga Baganda banange, ensi Buganda eri more important than an individual. Era tulinna okugi lwanilira.
 
The administrator has disabled public write access.
AKUFUMBIRA EYO MUTWE NAAWE OMUFUMBIRA YA BIGERE MWENNA NEMWENKANYA EVVUMBE
#8848
Kulabako
Kiragala
Posts: 957
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Ebyobuwangwa Byaffe 3 Months, 3 Weeks ago Karma: 5
MU WEST TERI PUBLIC PROPERTY YO MULISENDAYO DDI TUBAKOOYE

MUJJUKIRA EBYALIWO MUKUSOOKA BIBINO KATI BABANO BAZZE OKUKOLERAWO EMIRIMU GYAABWE BALOWOOZA NTI ABANTU BABYERABIRA .MUJJA KWESANGA NGABANO BENNYINI BEBAYONOONA EMBUGA ZAFFE BO BAJJE BAZIMBEWO
---------- ------------- ----------------------

ABANTU beekulumulula okugenda ku lubiri lwa Bbemba Musota e Namung’oona ku luguudo lw’e Hoima okwerabirako ku bamu ku bantu abagambibwa okuba nti beetaba mu kumenya olubiri luno abatandise okwetwalayo okusaba okusonyiyibwa.

Batuuka balaajana era abamu baleetebwa bang’anda zaabwe nga tebategeera ne bakuma ekyoto kya Bbemba n’oluvannyuma ne wabaawo ebintu ebiboogererako nga bwe bibanenya okwekobaana okusaanyaawo ebyobuwangwa.

Ku Lwokutaano abantu abasoba mu 15 be beetutte mu Lubiri nga bakirako abalwadde era bakira buli atuuka ng’asabirawo kisonyiwo nti ‘Jjajja twasobya, tusonyiwe tetwamanya’.

Abamu ku bantu bano okuli Moses Muwanga, Johan Kemigisha, Rauben Atwire, Haruna Mponga ne Kepher Bwalya bagamba nti baagulwa ne baleetebwa okusenda abaazimba mu ntobazi era baali bakolera ku biragiro bya bakama baabwe.

Bino okubaawo kiddiridde ab’ekitongole ekikola ku butonde bw’ensi ekya NEMA ne Poliisi nga bakulemberwamu minisita w’amazzi n’obutonde, Maria Mutagamba okuvaayo ne bamenya amayumba gonna agaazimbibwa mu lutobazi lw’omugga Lubigi e Namungoona.

Mu kikwekweto kino mwe baamenyera n’embuga ya Bemba Musota n’okwonoona ebimu ku bintu byamwo ebyobuwangwa.

Ku Lwokutaano abantu baakulugguse okugenda okwerabirako abamu ku baamenya ekifo kino nga bavaayo okwetonda wakati mu kuwanjaga.

Omuzaana Ssekyoya Nalubega yategeezezza nti buli muntu eyeenyigira mu kume-nya olubiri luno waakukolwako kubanga Bbemba munyiivu.


Published on: Saturday, 7th March, 2009[/b]

Kabaka, govt wrangle over Lubigi wetland


Written by Hussein Bogere
Wednesday, 12 May 2010 18:58

Buganda says it’s kingdom land, but government insists it is public property

A simmering land wrangle between Buganda Kingdom and the central government has set two government departments on a collision course over who actually owns Block 203, Kyadondo, in Kampala District.

While the acting Commissioner of Land Registration, Sarah Kulata, says that the land belongs to Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, the Commissioner for Surveys and Mapping, Moddy Nsubuga Kajumbula, insists that Block 203 is public land.

The disputed land is a wetland separated from the main Lubigi swamp by the Kampala Northern Bypass. It is located on the right-hand side of the Namungoona roundabout, towards Bwaise route.

This disagreement came to the surface after a local company, Lubaga United Contractors and Transporters Ltd., last year applied to Uganda Land Commission, the custodian of public land, to lease 33 acres. The lease was granted on April 24, 2010.

According to the company’s Managing Director, Patrick Mukalazi, his company planned to build a taxi park and market on the land, part of it being in Wakiso District.

Before he could proceed, Mukalazi also applied to Wakiso District Land Board to survey the land under its jurisdiction. That is when the Wakiso officials smelt a rat and tipped off Buganda Land Board.

On March 18, 2010, according to documents seen by this paper, Bashir Kizito of Buganda Land Board wrote to the Commissioner for Surveys and Mapping, Moddy Nsubuga Kajumbula, asking him to cancel the “illegal” survey of the land.

“It has come to our knowledge that some people without our knowledge, consent or authorisation have caused a subdivision survey on [His Majesty the] Kabaka’s land on Block 203 Kyadondo, culminating into Plot 6088.

Please take note that this survey is illegal and must be stopped. We further request that it is cancelled and the original plot reinstated,” Kizito wrote.

Now, Buganda Land Board is suspecting foul play after Kajumbula refused to reply to its request and, instead, wrote to Sarah Kulata saying the property in question is public land.

“The land, being a wetland, was demarcated and reserved as Crown Land, now referred to as Public Land under Uganda Land Commission. It borders with Kabaka Daudi Chwa’s personal land F.C 17534 C/No: 3030 of 1907 last reviewed in August 2007.

Therefore, the allocation of that land to Lubaga United Contractors, Traders and Transporters Ltd under reference ULC/151/4103 is considered to be valid. This is because according to the law, ULC is the controlling authority of public land in Uganda,” Kajumbula wrote on March 23.

Mayanja Nkangi, the ULC Chairman, confirmed that the dispute had been brought to his attention by the businessmen, upon which he asked Kajambula for an opinion.

On May 5, according to Nkangi, Kajumbula wrote another letter reaffirming his position that the land is public. “As per my earlier communication, I emphasise that it is public land,” the letter reads in part.
 
The administrator has disabled public write access.
#8849
Kulabako
Kiragala
Posts: 957
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Ebyobuwangwa Byaffe 3 Months, 3 Weeks ago Karma: 5
YOONO KAJUMBULA WAKAKO ASIBUKA WA KUBANGA TALOWOOZA NTI OLUBIGI LWEYASANGAWO TEWALIWO BANTU BAALI BALULABA OKULULEKAWO NEBAGENDA BAZIMBA AWALALA NAYE OLUUSI OBALEKA NEBAGWA KUKIBAMBULIRA NEBAMANYA NTI TEBAJJA KUMALA GASSA BIGALO BYAABWE KUBULI KYEBASANZE EYO EWAMMWE GYEMUVA BWEMUBA MUZIMBA MUNTOBAZZI NGA NSOLIMA LWAAKI SIGYEMUGENDA NEMUZIMBA BABAGAMBA BUGANDA EFA NNYO OKUFUNA PARK ZE MMOTOKA MUBIFO BYETWAALA NTI BYA BUWANGWA OBA NGA BYEBISENGEJJA AMAZZI .

OKUJJAKO OBUBBI NOMULUGUBE NOBULUVU BWABANTU ETTAKA GYEMUGULA LIBAWEDDEKO EWAMMWE GYEMUVA TEMUSOBOLA WADDE KUKKIRIZA ATAZALIBWAAYO WADDE KUFUNAYO KIBANJA OKUJJAKO OKULULUNKANIRA BULI KEMUSANZE MU BUGANDA NEMUKONOONA YONNA EMIGGA NEBIBIRA ABAGANDA BYEBAKUUMA OBUTIRIBI BYONNA NEMUBIYIWAMU ETTAKA ERA MUZIMBEYO MUBYONOONE , ATE BWEBAVA AWO NEBEBUUZA LWAAKI KAMPALA AFUUKA EKIDIBA .

ENJUUYO LWAAKI TOGIZIMBIRA DDALA MUMWAALA GWE NAKIVUBO NOYOLEKA OBUWUTTUFU? KATI BWOGEZAAKO OKUBIKKAKO NGO KAYANIRA NEBYOTOMANYIIKO MAYITIRE , EBYA BUGANDA TEMUBIMANYI TEMULOWOOZA NTI BYEBIRI EBYAMMWE , GYEMULIIRA MU KATAASA AKAMU EKYAALO EKIRAMBA ABAGANDA BALINA ENGERI GYEBATAMBUZA EBYAABWE MUGENDA DDI TUBAWUMMULA KUBA TUKOOYE ABALUVU .

GWOONO KAJUMBULA EBYO BI LAW BYAMMWE BYOTUBULIRA BYEMU SIGNING EKIRO MU STATE HOUSE TETUBIMANYI ERA SINGA OYANGUWA OKUKITEGEERA NTI BYONNA BYAKUKASUKIBWA MU BISAANIKO TEWANDIMAZE BISEERA BYO KUZIMBA BYOTOJJA KUGENDA NABYO

KYEWUNYISA OKUBA NTI BULI LWEWABAAWO SCANDAL ZE TTAKA MAYANJA NKANJI ELINNYA LYE BALISAAMU NGO KUTUNDA ETTAKA LYE BUTABIKA NE KITANTE , WALIWO ABAGANDA ABALIKO AKABUUZA
 
Last Edit: 2010/05/15 21:39 By Kulabako.
The administrator has disabled public write access.
#8885
mirembe
Jjinja Bululu
Posts: 151
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Ebyo buwangwa 3 Months, 1 Week ago Karma: 3
link

Aboolugave basumikira Kabaka

EKIKA ky’Olugave kimu ku bika by’Abaganda binnansangwa. Ekika nnansangwa kitegeeza nti Kintu yagenda okujja mu Buganda ekika kino yasanga weekiri. Bino biri mukaaga. Ebika ebirala byajja ne Kintu n’ebirala ne bijja ne Kimera. Owaakasolya ye Ndugwa atuula e Ssekiwunga Katende mu Mawokota.

Akabbiro kaabwe Maleere. Emibala gyabwe givuga nti, ‘Lwa Ndugwa lwa Katende
Sseruku lulengejja, simanyi lulingwira’ n’ebisoko ebirala ebigenderako.

Gino gy’emirimu gyabwe ku Kabaka; Batuuza; be baalirira ekiwu kya Kabaka.

Baweesi; be baweesa empiima ‘Naluwan-gula’ Kabaka gy’alwanyisa.

Bakubi era bakuumi ba Mujaguzo. Abakulira ku mulimu ogwo ye Ntenga. Okusumikira n’okusalira Abalangira emisango. Kasujju Lubinga y’asumikira Abalangira wamu n’okubasalira emisango. Kabaka bw’aggya omukono mu ngabo, Kasujju Lubinga aleeta Omulangira anaalya Obwakabaka n’amukwasa Katikkiro ku Wankaaki nga bw’agamba nti, ‘Ono ye Kabaka.’

Mugema bw’amala okusumikira Kabaka ku ddyo, Kasujju Lubinga naye asumikira Kabaka eddiba ly’engo n’olubugo ng’ebifundikwa ebibye biri ku ddyo nga bw’alaamiriza nti, ‘Okolanga bulungi emirimu gyo gyonna era ofuganga bulungi abantu bo bonna. Oluvannyuma n’amukwasa mu mukono gwe ogwa kkono empiima eyitibwa Naluwangula nga bw’alaamiriza nti, ‘Kwata empiima eno kabe kabonero akategeeza nti abantu bonna onoobasaliranga emisango gyabwe ng’ogoberera amazima gennyini awatali kusaliriza.

Omulimu omukulu ogwa Kasujju edda kwabanga kukuuma Balangira bonna abakulu mu kkomera okuggyako Kiweewa (omwana wa Kabaka ow’obulenzi asooka) nga batya nti bayinza okwagala okuwamba Kabaka aliko.

Obumbowa; omulimu gw’obumbowa baagutandika ku Ssekabaka Kimera bwe yaggya Kaweekwa ku bulunzi n’amuwa obumbowa.

Era be baasamiriranga balubaale; Nagawonye, Mukasa, Kiwanuka ne Ddungu.

Be bakima amazzi ga Kabaka g’anywa. Kalali y’akola omulimu ogwo era mu kusumika alaga Kabaka olwendo lw’amazzi nga bw’amugamba nti, ‘Nze nkukimira amazzi g’onywa.’

Be baleeta omuzaana wa Nanzigu. Obwananzigu buliibwa bakazi ba Mbogo era bwansikirano.

Be bakubira Kabaka empafu n’okumulimira emmere y’omwaka. Omugave akola omulimu ogwo ye Masiko. Ono era y’alima omuddo mu Namuziga y’Olubiri lwa Kabaka ey’omunda.
 
The administrator has disabled public write access.
#9442
Namukaabya
EKISA KITTA NE NGE ETTA
Bbalaafu Safaya
Posts: 581
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Olubiri lwa Ssekabaka Bulamu e Kyaddondo 1 Month, 1 Week ago Karma: 6
Mukasa, Kasambula 28, 2010 Awasooka Ekirowoozo Yintaviyu Ekimeeza Ebbaluwa Ebyemizannyo


Olubiri lwa Ssekabaka Bulamu e Kyaddondo

SSEKABIRA A. ZZIWA
Obukulu bw’olubiri luno bwatandikira ku mulembe gwa Ssekabaka Ssuuna. Olubiri lwa Ssekabaka Ssuuna lwo lwali Ggimbo. Ssekabaka Ssuuna mu bukulembeze bwe yatabaala Abaziba era n’abasinza amaamyi kumpi kubamalawo era olwadda ewaabwe ne bamusindikira eddogo lye liba limutta. Abalogo be baakola kyonna ekisoboka okulaba nga Kabaka adda engulu nga buteerere naye omu ku bagabe be ab’ali awo n’afuna okwolesebwa okwajjira mu mmunyeenye omwava eddoboozi eryamugamba nti “muzzukulu wange mumutwale mu makkati g’enjuba gy’ajja okuwonera naye taddamu ensobi gye yakola.”

Ennyumba Bazibumbira eya Masengere



Munda w'ennyumba Bazibumbira


Ennyumba Bazibumbira eyazimbibwa Ssekabaka Muteesa II


Omugabe yasitukiramu n’agenda abitegeeza mukama we kyokka Kabaka n’amubuuza oba ng’ekifo kye yali alagiriddwa yali amanyi wekiri kyokka ebyembi nga tamanyi wekisangibwa. Baba bakyewuunaganya eddoboozi ne likomawo nga bali ne Kabaka ne libagamba nti bagoberere emmunyeenye w’enaagwa nga weewo Kabaka w’anaawonera .
Mu kiseera kino, Kabaka yali takyasobola kutambula ate nga tewali ntambula yonna bwe batyo baasiba akannyo ke baakola mu miti gy’emivule ne bamusitulira okwo.



Ekyomukisa omulungi obudde bwali tebunnakya emmunyeenye n’egwa mu kifo kino era eddoboozi ne likomawo ne libagamba nti, “muyogeeyoge, wano gwe mutala gwange Bukasa era nze Mukasa nannyini gwo era muzzukulu wange njagala mumutwale eyo emmanga awali ekibira amalewo ennaku mwenda era wezinaggweerako ajja kuba afunye amaanyi agasituka era addemu alamule.


Bwe batyo baakola ekyabalagirwa. Nga wayise ennaku bbiri, abamu ku bambowa n’abaddu baagenda okusaka naye nga mu kiseera kino Kabaka yali taliimu wadde agoogera. Abaali basigaddewo baali bali awo ne balaba ekimyanso omwajjira n’okubwatuka. Mu kimyanso kino mwajjiramu omukyala omumyufu ennyo ng’alina enviiri empanvu. Yajja akutte ekibya wamu n’ensumbi omwali amazzi n’agateeka mu kibya n’ayisa ku Kabaka oluvannyuma n’amulagira anywe era Kabaka n’anywa, omukyala n’abulira mu kifo kino.


Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, abaagenda okusaka bagenda okudda nga Kabaka akubye ku matu era n’abasaba bamuwe alye ku bye baali baleese era ne bafunamu okutya kuba baali bamulese mu mbeera mbi okutuusa bannaabwe abaali basigaddewo bwe baababuulira ekyali kiguddewo era bafuna essanyu olwokulaba ng’omuntu waabwe yali ateredde era yagenda mu maaso n’okunywa amazzi.


Ennaku zaagenda okuwera omukaaga ng’eyali tatambula, talya, tanywa byonna ng’atandise okubikola era teyalinda nnaku mwenda kuwera nga yateredde dda. Kabaka olwawona n’ayita abantu be n’abagabula nga yeekulisa embeera gy’abaddemu era yali musanyufu nnyo olwokuddamu okufuna obulamu era okuva olwo ekifo kino we yawonera ekyali kimanyiddwa nga Bukasa, nga ne nannyini kyo ye yali Kabaka Mukasa n’ayongerwako erinnya lya Bulamu olwekyo kye yakolera muzzukulu we, n’ekyalo ne kitandika okuyitibwa Bulamu.


Olwessanyu eringi, Ssekabaka Ssuuna yazimba ennyumba mu kifo kino ng’ekijjukizo Kabaka Mukasa –Bulamu mwe yatuuzanga amasengere era n’azimbawo n’ennyumba endala ey’abalangira era nga munno mwe yatuukiranga ng’azze okukiika ewa jjajjaawe Mukasa-Bulamu. Nga wayise ebbanga, emiti egyali ku kannyo kwe baamuleetera gyamera era n’okuva olwo, buli Mulangira eyalinga agenda okulya obwakabaka yamalanga kutuuka mu kifo kino n’abaako emikolo gy’akola, n’alyoka agenda atuuzibwa ku namulondo era Ssekabaka ssuuna mu kifo kino yalekawo kojja we, Kajajjatta nga y’akikuuma, era buli Mulangira eyalyanga entebe ng’azimbawo ennyumba ye mwe yatuukiranga wamu n’okuddaabiriza Masengere era ku mulembe gwa Ssuuna 11, ensonga zino zaagenda mu maaso n’okukolebwako.


Ssekabaka Muteesa 1 eggulu bwe lyamukuba naye yawonera mu kifo kino. Era olwobukulu bwakyo, Ssekabaka Mwanga1 yajjulula embuga y’essaza Kyaddondo okuva e Mbuya n’agizza e Kasangati, ekiri okumpi n’olubiri luno. Ye Ssekabaka Muteesa 11 yagezaako okunoonyereza n’okuzzaawo ekifo kino ekyali ng’ennyumba z’ebyobuwangwa ezaaliwo era bw’atyo yatandika ku kumenyawo ennyumba ya Bakabaka eyali ey’essubi n’azimbawo ey’amabaati ey’obuwangaazi.


Ennyumba eno yagirekangamu mukoddomi we, Kakembo eyali bba wa Nnaalinnya Kampujja-Bwakabaka era ye yakuumanga ennyumba eno nga Kabaka taliiwo. Mu kiseera kino, ekifo kirabirirwa omukongozzi wa Bulamu, omumbejja Nakayenga Kisirisa wamu ne Katikkiro w’olubiri, omulangira Ssekamaanya Nelson wamu n’abalala nga bakulemberwa Ssaabalangira Moses Kayima. Ekifo kino kiri wansi wa minisitule y’ebyobulambuzi n’ennono e Mengo.


Wabula abalabirira ekifo bagamba balina okusoomoozebwa omuli abakulembeze b’ekitundu okwagala okumenyawo embuga eno era olumu ekifo kino kyalumbibwa ne kyokebwako oludda n’okumenya bbugwe waakyo era n’ekkubo eriyingira mu mulyango ogumanyiddwa nga Wansanso nalyo lyazibibwa.
Bizziddwa buggya nga Kasambula 27, 2010
 
Last Edit: 2010/07/28 20:16 By Namukaabya.
The administrator has disabled public write access.
AKUFUMBIRA EYO MUTWE NAAWE OMUFUMBIRA YA BIGERE MWENNA NEMWENKANYA EVVUMBE
#9443
Namukaabya
EKISA KITTA NE NGE ETTA
Bbalaafu Safaya
Posts: 581
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Olubiri lwa Ssekabaka Bulamu e Kyaddondo 1 Month, 1 Week ago Karma: 6
Ennyumba Bazibumbira eyazimbibwa Ssekabaka Muteesa II
 
Last Edit: 2010/07/28 20:31 By Namukaabya.
The administrator has disabled public write access.
AKUFUMBIRA EYO MUTWE NAAWE OMUFUMBIRA YA BIGERE MWENNA NEMWENKANYA EVVUMBE
Go to topPage: 123456



Latest Forum Posts
TopicsByCategoryDate
FDC, DP form Kiboko squadsMusajjalumbwaBaliranwa / Neighbours04-09-10 04:24
Re:M7 To send Chaka Mchaka GraduatesTo ...BusagwaOmw Africa / The African 02-09-10 15:09
Re:Ani yayokezza akatale ka Kis...BusagwaOmuko Ogusooka / Frontpage News 02-09-10 14:59
Re:Videos Z'obuwangwa Bwa BagandaOmumbejjaRediyo ya Baganda / Baganda Radio01-09-10 20:57
Re:BamwokezzaNamukaabyaBaliranwa / Neighbours01-09-10 18:35