Baganda Radio
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?

Embuutu Ezibutikira Buganda Nga M7 Bwatta Abantu
(1 viewing) (1) Guest
Go to bottomPage: 1
TOPIC: Embuutu Ezibutikira Buganda Nga M7 Bwatta Abantu
#8492
Musajjalumbwa
EKITIIBWA KYA BUGANDA KYAAVA DDA
Kiragala
Posts: 957
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Embuutu Ezibutikira Buganda Nga M7 Bwatta Abantu 6 Months ago Karma: 9
Embuutu za Bukedde nebigwo bakiteekawo okubuutikira Obuganda nga M7 bwatta Abaganda nokubatulugunya, abakulu nabato. Ebyo abikola nga amaze okujjawo CBS ne TV ya Buganda nagigaana okugenda ku mpewo. Baani bano abagenda mu mbuutu zino? Baganda? Bamanyi kyebaliko? Bayimbi ki abawagira embuutu zino namutta?

Abayimbi nabo bazze bamazeeko nga mawogo era bakira buli alinnya ku siteegi ng’enduulu evuga.

Waasoose mpaka z’ebibiina eby’amazina n’engoma ezaawanguddwa ekibiina kya Proffessional Music Perfomers ekyavudde mu Disitulikiti y’e Masaka.

Omuyimbi Matthias Walukagga bwe yatuuse ate ne kitabuka era katono abantu beegugunge ng’agaanyi okuyimba ennyimba ezimu ze yagambye nti zaamusibisa.

Yamaze kuzikoonako katono (okusampolinga) abantu ne baweweera.

Mu balala mwabaddemu Judith Babirye, Mariam Ndagire, Jose Chameleone, Bobi Wine, Bebe Cool, Ragga Dee, Charles Ssekyewa, Dan Mugula ne Firiida mukyala we. Abalala kwabaddeko Fred Ssebatta, Gerald kiweewa, Mamuli Katumba, GNL n’abalala abaayimbye okukeesa obudde.
 
The administrator has disabled public write access.
EMPOLOGOMA EKUTUDDE OMUTEGO GW\'OMUYIZZI
#8494
Kulabako
Kiragala
Posts: 957
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Embuutu Ezibutikira Buganda Nga M7 Bwatta Abantu 6 Months ago Karma: 5
Munsi ezibaddemu entalo gamba nga South Africa oba Zaire abantu bo bennyini bebaali beterawo enyimba zaabwe nga mwebasigadde okukaabira ennaku yaabwe olwokuba baali basibwa nga benyigidde mu byo bufuzi okwogera ku nsonga zaabwe era baavaayo nga batutumufu naddala nga bayimba kunnaku omuntu wa bulijjo gyayitamu ate bwebazikyuusa mu luzungu ne zibawa akatale kubanga waliwo ne banaabwe abaddugavu naddala abesanga nga mu America oba nga Jamaica nga nabo bayimba ku ffuga bbi eryo bumbula lyebayitamu. Kyoova olaba nti abayimbi nga Lucky, Miriam Makeba ,Bobo Marley okukonolayo abatono , bamanyibwa ensi yonna.

Naye tolabanga Gavumenti katugambe eya Apartheid eya South Africa nge jeewo radio oba nabuli kantu konna omuntu kayinza okukolamu sente yo neggulawo ebyaayo omuntu yennyini gweyigganya nagenda nagweera eyo, neyejjako kasente konna kalina nakawa ate abantu bennyini abamuyita okwongera okubagagawaza , nti mujje mumbutikizi yeddembe lyammwe tubasanyuse olwokubabutikira nemutabaako nakimu kyemusobola kwekolera ,era gwe omumtu yoomu omu akaaba ennaku nokkubonyabonya nebatalukutumirwa mwaana.

WANO OMWEERU KYAGAMBA NTI OMUDDUGAVU

DESERVE WHAT THEY GET

EKYENNAKU TEBABAGAMBYE NTI BABALETERA BITAGULO , ERA BAKOZESEZZA MBUTU KUBA BAMANYI OMUGANDA OSULIRA MUSULIRE GGUMBA NATENGA OMUKIRA BYEEBYO OMUFUZI WAMMWE M7 BWABAYITA MBWA, NGA BABAKUNGANYAAMU SSENTE ZAMMWE NGABAGENDA BAKUBA OBUKULE OKUTUUKA KU BANK ,

OLUUSI BANAFFE TETUMANYI WA WAKUTANDIKIRA KUBASASIRA NA WAKUKOMA, NAYE KIKAABYA AMAZIGA, MULIMU ABANTU NGA KATONDA YABAKOLA BANYUMIRWA OKUBONABONA NGA TEBAFAAYO KYE BABAKOLA.
 
The administrator has disabled public write access.
#8509
Omumbejja
AWALI MUKAMA TEWALI KIREMA
Bbalagavu
Posts: 1692
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Embuutu Ezibutikira Buganda Nga M7 Bwatta Abantu 6 Months ago Karma: 8
Naye oluusi wesanga abo bonna si Baganda bebabaddeyo kubanga kati Buganda yajjuza abe bule ne bweeya ate tuleme kwelabira nti no muliro ogwayokeza atale ka bantu ababadde tebalina kebasigazza kakwekolera okujjako okutunda mu butale nabo besanze nga nakatono kebabadde nako, nako bakabokezaako , kyokka nga kinnya nampindi okuva awali entujjo yokubutikira obulamu bwaabwe , sirowooza nti ku babaddeyo wabaddeyo nababadde bakyakabira emaali yaabwe eyatokomokedde mumuliro.

Mpozzi nga bulijjo gavumenti ejja kujja ebaletere obusumaali nobusente okubawooya wooya ebasubize okubazimbira akatale akomulembe era nga bweyasubiza bali beyayokera aka sooka .

Bagamba nti kyokola munzikiza kiba daaki Mukama nakikubamu tochi, waliwo okuba nti omuntu awomerwa okubonabona kwabantu naye buli kintu kiriko ekkomo , tusasira bannaffe abakoseddwa olwokwokebwa ebintu byaabwe.
 
Last Edit: 2010/03/10 02:33 By Omumbejja.
The administrator has disabled public write access.
I AIM TO PLEASE.............SOMETIMES
#8512
Twelwaneko
Muto
Posts: 6
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Embuutu Ezibutikira Buganda Nga M7 Bwatta Abantu 6 Months ago Karma: 2
BANANGE ABAGANDA ABATEMYAAKO MWAGALA WANKULAKI!!!

Banange mukyogeleko kubanga nange nakifumitilizamu nekinemeladala okukitegera. Kubanga tosobola kubanga abaana bo basomera mugano amasomero ge bayita “BONNA BASILIWALE” kyoka gwe nokera nawankya mbu weyiwa kubikujjuko e Namboole mbu kumbutukizi. Abaganda banange kino kyekisela okuyiga, okumanya, okwagala Buganda, nokubera abanyivu enyo nga tulwaninira ebyaffe nga amawanga amalala bwegakola. Mumalwaliro gonna aga government eddagala temuli, school fees zekanamye, enguddo zonna mbi nyo, abantu abamu bwebalya ekyemisana ekyegulo tebakifuna, abaana abafuluma e Makerere abaganda tebafuna mirimu babalara bebagiwa. Okusadaka abaana kugenda mumaaso government telina kyekolawo. Kyokka gwe nokela enkya mbu weyiwa mu mbutikizi obusente bwonna bwosonzewo munaku empitilivu ate gwe nobuwa abagagga babutwale. Banange abaganda tunayiga ddi!! Banno abasagya bo baliwo kukozesa baganda nga madaala buli kisera. Radio yammwe eya CBS bagigalawo kubanga yali ebalemye okulwanyisa kakati kyova olabe nti basobola okutandikawo e yabwe eya Bukedde kati gwemuzindalo gwebakozesa okujjoga okufutyanka Buganda. Banange tubasaba mutunule mulabe wa M7 ne banne gyebatutwala tulemenga kweyisanga abatalina suubi okumala gabukira buli kigaali. Manyi ebintu bizibu naaye bwetunakwataira awaamu tugya kutuka kubuwanguzi. EKISINGA OBUKULU FFENA KWEGATA NGA ABAGANDA ABAANA BENDA EMU ELA TUSSE KIMU NGA NKUYEGE. MUKAMA AJJA TUTUSA KUBUWANGUZZI.

Awangaale
 
The administrator has disabled public write access.
Go to topPage: 1



Latest Forum Posts
TopicsByCategoryDate
Re:Baggyeeyo ebissi mu kulonda kwa NRMmirembeBaliranwa / Neighbours06-09-10 06:45
Re:Baggyeeyo ebissi mu kulonda kwa NRMmirembeBaliranwa / Neighbours06-09-10 06:29
Re:URA blocks Mike Ezra from travelmirembeEmirimu n Ebyenfuna / Employment and Busy-ness 05-09-10 10:08
URA blocks Mike Ezra from travelmirembeEmirimu n Ebyenfuna / Employment and Busy-ness 05-09-10 09:43
In Pictures: NRM primariesmirembeBaliranwa / Neighbours05-09-10 08:29