Olukwe ku CBS
Ggwanga Team
Abakozi abaagenze ewa Museveni abawadde ebifo n’obukuumi
Gavumenti esazeewo okuzzaako CBS etaase akalulu
Ebikwata ku bufubo wakati w’akabinja k’abakozi ba CBS akakulemberwa Kayibanda, ne pulezidenti Yoweeri Kaguta Museveni byongedde okulanda.
Kitegeerekese nti Museveni asuubizza abakozi mu kabinja kano obukuumi obw’enjawulo wamu n’ebifo mu gavumenti ye, ssinga abaddukanya leediyo eno basalawo okubanaabira mu maaso.
Akabinja kano, akalimu abakozi abalala: Davis Kiragga, Geoffrey Ndugga, Jennifer Christine Nassozi ne Tamale Kkonde, akakulemberwa Kayibanda kaatandika okusinsinkana pulezidenti Museveni ku lwokusatu lwa ssabbiiti ewedde.
Kigambibwa nti gye buvuddeko waliwo n’ekiwandiiko kye kaakwanze Museveni ekinnyonnyola kalonda yenna akwata ku buli mukozi ali ku CBS.
Okusinziira ku nsonda ezeesigika, akabinja kano kaalaze okutya okutuusibwako obulabe, okuva mu bantu abatandise okubatiisatiisa olw’enkolagana gye balimu ne Museveni, era ne kisalibwawo baweebwe obukuumi obw’enjawulo, obuyinza okubeera obwa ‘bubbaasitoola’.
Ensonda era zitegeezezza nti abakozi bano pulezidenti abakakasizza okubawa emirimu oluvannyuma, bwe baamulaze okutya, nti obufubo bwe balimu naye bukyasobola okunyiiza bakama baabwe ku CBS ne basalawo okubanaabira mu maaso.
Obufubo buno bukwanaganyizibwa omuwandiisi wa pulezidenti ow’ekyama Amelia Kyambadde.
Lwaki Museveni yasisinkanye Bakayibanda
Museveni nga tannaba kusisinkana Bakayibanda, yasooka kutuuza obufubo obuwerako n’abakungu be omuli ab’ebyokwerinda wamu ne baminisita, era mu bwonna ne bakkiriziganya okuzzaako CBS, awatali kuddamu kugiteekako kakwakkulizo konna.
Wabula bonna ne bakkaanya nti okukwata CBS n’eddizibwa ku mpewo obutereevu, kijja kuswaza gavumenti, era erabike ng’etakyalina makulu mu bantu b’ebadde esinziiramu okulumiriza CBS nti yazza emisango, omuli ‘n’ekittabantu’.
Baasalawo okunoonya engeri gye basobola okufunamu abamu ku bakozi ba CBS abanakkiriza okwetondera gavumenti, olwo balyoke baggule CBS nga waliwo akabonero akalaga nti gavumenti si ye yapondoose. Kino ky’ekigu Bakayibanda kye baaguddemu.
Ensonga endala zigambiba nti abakungu ba gavumenti bangi baatandika dda okweraliikirira abakungu mu gavumenti ya Ssaabasajja abalabise okubasuuza ebifo byabwe mu kulonda okujja olw’ensonga ya leediyo eno, n’ensonga z’Obwakabaka endala.
Era bagamba nti bano okubanafuya, tekyetaaga kuddamu kuteekawo mbeera okuva mu gavumenti eraga nti e Mmengo eriyo abakungu ab’amaanyi, abeetaagisa gavumenti okutuuka ku nzikiriziganya ne Mmengo ng’eyita mu kuteesa nabo.
Kino kye kyaviiriddeko pulezidenti okwanguyirwa okutuula ne Bakayibanda, yadde nga waliwo abakungu ba gavumenti eya wakati abatuuka n’okuyomba olw’okumala ebbanga erisukka ne mu mwaka nga balemeseddwa okulaba ku pulezidenti, kyokka Kayibanda n’ayitawo butereevu.
Mmengo ekaaye
Gavumenti ya Ssaabasajja erabudde akabinja k’abakozi bano, nti bagende mpola mu bufubo buno, era etangaazizza nti byonna ebikolebwa biri wakati wa kabinja kano ne pulezidenti Museveni bokka, so si wakati wa gavumenti oba pulezidenti ne CBS, oba Obwakabaka bwa Buganda .
‘CBS leediyo ya Bwakabaka, ate erina obukulembeze bwayo obumanyiddwa obulungi. Ebya Bakayibanda ne banne okusisinkana n’okwetondera Museveni ku misango gye tumanyi obulungi nti tebaagizza, bikoma wakati waabwe ne munnaffe gwe beetondedde. Si bya CBS yadde Obwakabaka bwa Buganda’. Oweek. Medard Sseggona minisita omubeezi ow’ebyamawulire bwe yaggumizza.
Sseggona era yategeezezza nti Museveni okusisinkana Bakayibanda, akkiriza bulungi nti leediyo eno teyaggalibwawo mu makubo matuufu. ‘Mu kifo ky’abantu be kikwatako abandibadde basisinkana akakiiko akavunaanyizibwa ku biweerezebwa ku mpewo, balina kukiika wa pulezidenti gye balina okukubira amavi’. Bweyannyonnyodde.
Olukiiko oluddukanya CBS
Akulira olukiiko oluddukanya CBS Oweek. Godfrey Kkaaya Kavuma, agambye nti Bakayibanda kye baakoze nabo baakyekangira mu mawulire.
“Abakozi bakyanyweredde ku musango oguli mu kkooti nga bavunaana gavumenti okubalemesa okukola awatali kugoberera mateeka.
Abaagenze okwetonda bakikola ku lwabwe, era ba ddembe okuggya amannya gaabwe ku kiwandiiko ekiroopa gavumenti kuba tekyali kya buwaze.” Kkaaya Kavuma bwe yategeezezza Ggwanga ku ssimu.
Oweek. Daniel Muliika:
Eyaliko Katikkiro wa Buganda Oweek. Daniel Muliika agambye nti abakozi abeetumiikirizza ne beefuula abakiikiridde bannaabwe baalidde mu Buganda yonna olukwe, era beetaaga kuvunaana.
‘Oyo katemba yennyini, era abakozi abaasazeewo okukolagana ne gavumenti okumuzannya, bandidadde bavunaanwa. Museveni asisinkana atya abatamanyi na nsonga yatandisaawo CBS ku by’okugizzaawo?’. Muliika bwe yeebuuzizza.